TOP

Omukazi yeekwese n'abaana

Added 28th January 2017

ABAKAZI waliwo lwe bakutabula ne beesiba ku kintu ne batuuka n’okunoba so nga bandibadde bagumiikirizaamu.

Embeera y’ebyenfuna gye tulimu emaze ekiseera ng’etunyiga ebitooliro ate mukyala wange gye yakozesa okwecanga n’ava awaka.

Nze Fred Ssemwanga ng’abeera Namasuba mu Central nga nsuubula birime n’emirimu emirala. Mbadde ne mukyala wange Lydia okuva nga tukyasoma nga twatandika okubeera ffenna mu 2005.

Olwamaliriza okusoma ku YMCA n’atandika okukola ng’ atunda bummonde mu katale e Namasuba. Nze nasigala nkyasoma okutuusa lwe namaliriza mu 2006 era olwamaliriza nnafuna entandikwa ne nsuubulanga ebirime nga mbijja mu kyalo ne mbireeta mu kibuga okubitunda.

Mu 2006 nga gutandika mukyala wange yahhamba nti afunye olubuto era nasanyuka kuba nali nkyagala. Kye nnakola nga hhenda mu kyalo e Rakai nnoonye ku ssente eziwera olwo omukyala ne mmuleka e Namasuba nga bwe mmuweereza obuyambi.

Nabalanga emyezi gy’alina okuzaaliramu naye ekiseera kyatuuka nga ndaba tazaala. Nayita mukyala wange asooke ajje anneegatteko mu kyalo kuba be nnali mbeera nabo baali batandise okuhhamba nti omukyala ono alabika annimba, talina lubuto.

Bwe yajja yandabako nange ne mmulaba ng’olubuto lukuze era mu 2007 nga gutandika yasumulukuka omwana ne mmutuuma Mercy Katasi. Kye nnakola natunda ettaka ne nfunamu 650,000/- ne nzimuweereza zimulabirire mu bwannakawere.

Nnakomawo e Kampala ne mulabako olwamala ne nzirayo mu kyalo. Lumu yeepakira n’ajja andabeko mu kyalo era twakomawo ffenna ku kibuga. Mu 2010 twaddamu ne tuzaala omwana omulala ne mmutuuma Bwogi Mukisa, ekyannyongera essanyu.

Nagenda mu kyalo e Rakai ne ntunda ekibanja ekirala ne nfunamu 850,000/- zituyambeko. Twabeeranga mu mbeera nnungi era mu 2015 twafuna ezzadde eryokusatu omwana ne mmutuuma Innocent Kamukama.

Mu mbeera eno gye tubaddemu nneewunya ate omukyala okwefuula ku Ssekukkulu ya 2016. Amazaalibwa gano gaatuuka sirina ssente bulungi kuba nnali sikyafuna kimala.

Kino kyannemesa okugula ebintu bya Ssekukkulu wabula kye ssaamanya nti mukyala wange yanyiiga. Yansaba agendeko ewaabwe e Nakatoko mu Kaliisizo nange bwentyo saamusimbira kkuuli.

Nange natambulamu kyokka nagenda okudda ng’omukyala atisse ebintu ebisinga eby’omu nju nga n’abaana bange tebaliiwo. Bwe namukubira essimu mubuuze ogubadde yakola akakodyo k’okugikwata kyokka nga tanziramu kintu kyonna.

Nagendako mu booluganda lwe mmunoonye naye yambula. Awaka bankubira essimu nga tulina olukiiko lw’okumanyagana ng’omwaka guno gutandika.

Namukubira essimu ampe ku baana mbatwale babamanye n’angumya nti tewali buzibu naye saalaba ku baana era kye yakola ku olwo yaggyako essimu.

Nnagezaako okuddamu okumunoonya kyokka n’okutuusa kati essimu tagizzangako era simuwuliza. Ekinnuma be baana bange kuba ab’ewaffe baagala okubalabako naye sirina we mbaggya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu