TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Nyanzi afuna emiyembe 300 ku buli kikolo emirundi ebiri omwaka

Nyanzi afuna emiyembe 300 ku buli kikolo emirundi ebiri omwaka

Added 30th January 2017

ABANTU abagayaalirira okussa mu nkola amagezi agabaweebwa abakugu nga babatemera amakubo ag’okwekulaakulanya ate ne bakwatirwa abo abaliko we batuuse ensaalwa.

Bya Sennabulya Baagalayina

ABANTU abagayaalirira okussa mu nkola amagezi agabaweebwa abakugu nga babatemera amakubo ag’okwekulaakulanya ate ne bakwatirwa abo abaliko we batuuse ensaalwa.

Ekyennyamizza nti ku magezi gano oluusi babagattirako n’endokwa z’emmwaanyi n’ez’ebibala ku bwereere kyokka ne batabikozesa.

Bw’oba olina endowooza eno labira ku mukinjaagi Med Aziizi Nyanzi eyaggula amatu n’assa mu nkola amagezi ga Pulezidenti ng’akunga Bannayuganda okwettanira obulimi bw’ebibala ng’erimu ku makubo g’okugaziya ku nnyingiza y’amaka.

Nyanzi akozesa nnakavundira okuliikiriza emiyembe gye. Mu katono ke kadomola akabaamu eddagala erigoba emisota n’ebiwuka.

 

Nyanzi obukinjaagi abukolera mu kabuga k’e Lukaya ku luguudo lw’e Masaka.

Alima emiyembe n’emicungwa by’awezaako yiika ttaano. Mu kiseera kino, Nyanzi asekera mu kikonde olw’amakungula g’asemberedde ng’agage gatandika mu February ky’agamba nti kimuwa enkizo okutundira ku bbeeyi eya wagulu olw’abalimi b’ebika ebirala ng’ebyabwe bikamizza.

Emiyembe n’emicungwa alima ebirongooseemu ng’ate bibala nnyo n’okugejja.

Omuyembe guzitowa okutandika ne ggulaamu 500 okutuuka ku kkiro nnamba n’ekitundu era obutabi obumu abuzizika nkondo. Nyanzi agamba nti ettaka lye kkalu ng’ate lirimu olubumbabumba, yasooka n’alisimbako olusuku kyokka ebitooke ne bitawangaalako kwe kufuna ekirowoozo ky’okusimba emiyembe.

Yatandika n’endokwa 50 kw’ayongerezza okutuuka mu miti 400 n’omusobyo.

Muno yasimbamu emicungwa ne ovakedo omutonotono nti byonna mpaawo kitta kinnaakyo era mu mabanga yasimbamu ebikajjo naye bino atandise okubikendeeza olw’emiti okugaziwa.

Okunyirira kw’emiyembe gya Nyanzi gisaaliza agirabisizza amaaso ng’alowooza nti mboona naye agamba nti lwa bunene naye gikyabulako omwezi mulamba okukungulwa.

Annyonnyola nti okugejja kiva ku ndabirira n’ebigimusa by’obusa ne nnakavundira by’akozesa okwongera obugimu mu ttaka gattako okugifuuyira mu biseera ebigere ne gitalwala buwuka kuvunda n’okubandagala.

Nyanzi agattako nti mu yiika emu yasimbamu emiti 80, olw’endabirira ennungi buli kikolo akinogako emiyembe 300 n’okusoba ng’ate gimulisa buli kaseera ekimuwadde enkizo y’okunoga sizoni bbiri mu mwaka.

Mu matabi yasibamu obudomola mw’asa eddagala ly’obuwoowo nga likuηηaanya obuwuka ng’entalumbwa n’okugoba emisota ng’agamba nti omuyembe ogulabiriddwa obulungi gubalira mu myezi mukaaga.

Agamba nti abaguzi b'omu kitundu wadde bagiyaayaanira naye abaguzaako mitono kuba akatale k’alina mu Kampala n’e Rwanda kagazi nnyo nga tannatuuka mu bungi bwe beetaaga.

Wano w’asinzidde okwagazisa baliraanwa be nabo okukola omulimu gwe gumu.

 

Mu NAADS enkadde, yafunayo ku buyambi bw’okulongoosa ennimiro ze n’okugula ku ndokwa nga mu kiseera kino ayagala kutandikawo pulojekiti y’okugiyunga asobole okuguza abalimi ebituufu kitaase amakolero ag’akamula ebyokunywa mu bibala obutabisuubulanga mu Kenya n’awalala.

Omulimisa Eva Nakisaka n’amyuka Town Clerk Midred Nalulyo aba Lukaya Town Council abaalambudde ffaamu ya Nyanzi eya Aziiz Fresh Fruits baategeezezza nti abawadde enkola y’okwagazisaamu abatuuze okulima ebibala.

Baategeezezza nti Lukaya atudde ku musenyu n’ebbumba naye Nyanzi obukodyo bw’akozesezzaamu ettaka lye kyakulabirako eri abalimi abalala nti ebintu bisoboka nabo okulabirira ebibaweebwa mu nkola ya Operation Wealth Creation.

Ku ky’ababbi Nyanzi yagambye nti baagibbanga mu kusooka okutuusa bwe yassaamu abakuuma emisana n’ekiro wabula ng’okusoomoozebwa akusanze mu kyeya ng’omusana bwe gunyiinyittira amenya n’okugifukirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...