TOP

Nfuka ku buliri

Added 30th January 2017

Buli lwendya emmere oba okunywa caayi ne nzikuta nfuka ku buliri.

Nnina muganzi wange, naye kati simanyi buli lwendya emmere oba okunywa caayi ne nzikuta nfuka ku buliri. Kiva ku ki? Nsobeddwa era ndi mweraliikirivu? 

Mwana wange gwe afuka ku buliri oba muganziwo. Okusookera daala olina emyaka emmeka? Okyali muvubuuka oba oli muntu mukulu?

Embeera eno yatandika ddi? Obadde nayo okuva mu buto?

Kubanga okulya emmere n’okkuta oba okunywa ccaayi tekireeta kizibu kino wabula singa akabubi akagaana omusulo okufuluma kabeera kanafu wesanga ng’omuntu omukulu afuka ku buliri.

Abaana abato bafuuka ku buliri kubanga akabubi kano tekabeerawo naye omuntu yenna bw’agenda akula akabubi kakula era kasobola okusiba omusulo.

Ate ne maama w’omwana singa atandika omuyigiriza obutafuka ku buliri n’amusimba oba omuteeka ku Ppoti  omwana ayiga okufuga akabubi kaano.

Kale mwana wange oba embeera eno oludde naayo ate nga oli muntu mukulu ossuka mu myaka 15 olina okulaba omusawo ku nsonga eno.  

Omusawo ono alina okubeera omukugu era oba oli muvubuuka genda e Naguru Teenage Centre e Bugolobi mu Kiswa Healkth Centre oba genda mu ddwaliro ekkulu.

Omuntu omukulu talina kufuka ku buliri mu butonde akabubi kasobola okugaana omusulo okufuluma ne bwe gubeera mungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...