TOP

Omusajja ali siriyaasi abeera atya?

Added 30th January 2017

Ndabira ku ki omusajja anjagala?

 NDABIRA KU KI OMUSAJJA ANJAGALA?  

Mwana wange ekibuuzo kino nsuubira kinayamba abantu bangi. Abantu bangi abalowooza nti bali mu mukwanao naye nga mukwano gwa kiwani.

Omuntu akwagala omumanya newankubadde abasinga  tetufaayo kumanya.

Ebigambo sigaanye biraga omukwano naye okusinga olina okwetegereza omuntu  engeri gy’akuyisamu.

Omuntu akwagala olina kwetegereza bikolwa. Afaayo ku bulamu bwo, olina empuliziganya naye, akusaamu ekitiibwa oba akuyisa nga ekisaniiko.

N’ekirala baana bange omusajja okwegatta naawe tekitegeeza nti akwagala.

Abasajja era n’abakazi bangi ennaku zino baagala nnyo ssente. Kale yegatta naawe naaye nga kyayagala sente.

Ekirala abasajja batera nnyo okukozesa obugamabo obutyemula emitima gy’abakyala nga balowooza nti ddala omusajja by’ayogeera abitegeeza.

Naaye ate bwe wetegereza ebigamabo nebikolwa nga tebikwatagaana.

Kale baana bange ebigambo tobigenderako nnyo. Jukira waliyo batamanyi kwogera naye nga omukwano ogulaba mu bikolwa.

Abakyala abamu ennaku zino bakuliriza nnyo sente.

Kino kikyamau kubanga abasajja bangi abatalina sente naye nga balina omukwano.

Ate sente bazikola bukozi naye tosoboola kukola mukwano. Kale mwana wange okusinga bikolwa.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...