TOP

Omuwala omwesigwa omutegeera otya?

Added 2nd February 2017

NJAGALA mukazi naye omwesigwa omulabira ku ki?

NJAGALA mukazi naye omwesigwa omulabira ku ki? Nze Christopher.

CHRISTOPHER weebale kibuuzo kino. Okusookera ddala okumanya omuwala nga mwesigwa olina okumala naye ebbanga nga weetegereza ebikolwa bye n’empisa ze.

Ennaku zino abavubuka bangi bafunye obuzibu mu bufumbo kubanga tebeetegereza.

Okusinga bw’alaba omuwala ng’alabika bulungi ng’amwegomba era ekiddirira kumuwasa.

Kirungi okusooka okumwetegereza kubanga abawala bangi ennaku zino baagala ssente ekireese n’obwenzi.

Ekirala bw’ofuna omuntu ng’akulimbalimba ng’omanya nti oyo si mwesigwa.

Waliwo okulimba ebinene nga sirina bazadde kyokka nga weebali wabula ayagala kukuggyako ssente oba omusaasire obeere naye ate ng’akulimba.

Ekirala omuntu akubuzaabuza nga si mulambulukufu bulungi nga tomutegeera ng’okimanya nti si mwesigwa.

Ekirala weetegereze amaka gy’ava n’emikwano gy’alina. Bw’olaba ng’emikwano miyaaye ng’omanya nti naye yandiba omuyaaye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

'Drone' etomedde akatimba k...

Abantu abawerako balumiziddwa takisi ekika kya Drone nnamba UBJ 598 P ebadde eva e Mutukula - Kyotera okwolekera...

Ggoolokipa Lukwago agudde m...

GGOOLOKIPA wa KCCA FC ne Uganda Cranes, Charles Lukwago agudde mu bintu bw’afunye kkampuni egenda okumwambazanga...

Mabirizi addukidde mu kkoot...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi addukidde mu kkooti enkulu mu musango gw'avunaana Ssabalamuzi Alfonse Owiny Dollo n'agisaba...

Abatuuze batabukidde omuser...

Abatuuze ku byalo bina okuli; Kigando, Kirumba, Sozi ne Bukaana mu ggombolola y'e Mijwala e Sembabule bali mu kutya...

Fr. Tamale aziikiddwa wakat...

AKASEERA kakwennyamira mu bannaddiini n'abakungubazi abeetabye mu kitambiro kya mmisa ekulembedde omukolo gw'okuziika...