TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja yantundira mu nnyumba n'abaana bange

Omusajja yantundira mu nnyumba n'abaana bange

Added 3rd February 2017

Kati wayiseewo emyaka munaana bukya twawukana na musajja naye siddangayo kumulabako.

 Harriet

Harriet

OMUSAJJA yantundira mu nnyumba n’abaana bange n’atuleka mu bbanga. Nze Harriet Namutebi 35 mbeera Nkokonjeru.

Baze yali musajja mukozi wa bizigo. Okumufuna twasisinkana Kawempe gye twali tubeera ku kyalo kye kimu mu 2000. Omusajja yali alabika bulungi era nga yeegombesa.

Yankwana n’ammatiza mu buli kimu, okukkakkana nga tugudde mu bigambo bya laavu.

Yansaba antwale mu maka ge e Kawempe tutandike okubeera ffembi mu bulamu obw’obufumbo.

Bwe natuuka mu maka ge, yankwasa buli kimu olwo nange ne nguma nti andi mu ttaano.

Omusajja yansuubiza ebintu bingi omuli okunkolera bizinensi n’okumuyambako mu kukola ebizigo tusobole okwekulaakulanya n’okwezimba.

Yankakasa nti obulamu bwange agenda kubukyusa anneerabize ennaku yonna gye nnali ndabye. Wabula bino byonna yabikomya mu bigambo.

Bwe twazaala omwana owookubiri, omusajja n’atandika okutabanguka. Yankozesa emirimu gy’ebizigo naye nga tansasula, tampa mmere wadde okukola ku byetaago by’awaka.

Kuno yagattako obwenzi era nga ne baliraanwa abazingiramu. Namukwata enfuna eziwera n’abamu ku bawala abaali bapangisa ku nnyumba zaffe.

Lumu yantegeezaako nga bwe yali agenda okukola safaali, kw’olwo ne muteekako enkessi era namusanga mu muzigo gw’omupangisa nga beesanyusa.

Omusajja ensonyi yazifuula busungu era ekyaddirira kwali kwongera kuntulugunya.

Nnalaba siibisobole, kwe kunoonya omulimu ekirungi ne ngufuna ne ntandika okukolerera abaana bange.

Wabula lumu mba ndi awaka ne ndaba abantu abajja ne balambula ennyumba. Bantegeeza nga bwe baali bagiguze era bampaayo emyezi esatu nsobole okunoonya gye ndaga n’abaana bange.

Ekiseera bwe kyaggwaako nasibamu ebyange ne nzira awalala. Bino byonna okugenda okubaawo ng’omusajja takyasula waka era nga ne bwe mukubira essimu tagikwata.

Obufumbo bwe nagendamu nga neeyagalidde saabufunamu ssanyu okuggyako okubonaabona.

Kati wayiseewo emyaka munaana bukya twawukana na musajja naye siddangayo kumulabako.

Nasalawo kumwesonyiwa era nasigaza kimu kulabirira baana bange.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...

Fr. Dominic Kagoye  ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Omusomesa eyaziba amaaso ki...

Eyali Omusomesa wa Siniya okubala ne 'Physic's eyaziba amaaso mu ngeri eyewuunyisa ng'ali mu kibiina asomesa n'akubwa...