TOP

Njagala kugezza busajja

Added 10th February 2017

Okugezza obusajja kubeera kwa ssente mmeka?

Mwana wange nze kyemmanyi kizibu okugezza obusajja ng’okikolera wano mu Uganda, abeerimbika mu kukola kino baba bafere. Kubanga tetulina basawo bakugu mu mulimu guno.

Ekirala baana bange ndowooza mujjukira nti waaliwo ekiseera ng’abafere abeewaana nti bagezza obusajja bangi naye ennaku zino tokyawulira bangi nga beewaana nga kino bwe bakikola.

Kale toyonoona ssente nti oyagala kugezza busajja. Ky’olina okukola kwe kuyiga engeri gy’olina okukozesa ekyo ky’olina.

N’ekirala basajja bangi balowooza nti balina obusajja butono ddala naye ng’obusajja bwe balina bumala.

Ekirala simanyi lwaki abasajja balowooza nti sayizi y’obusajja kye kisinga obukulu.

Waliyo abasajja nga balina obusajja butono ddala naye nga bamatiza abakyala baabwe.

Kale mwana wange oba oyagala kumatiza munno, yiga eky’okukola kubanga sayizi si y’ematiza yokka.

Bw’oba oyagala kukugezza busajja sonda ssente ogende e Bulaaya bakikoleko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...