TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Abali mu mukwano gw'ewala bye balina okukola okunyumirwa Valentayini

Abali mu mukwano gw'ewala bye balina okukola okunyumirwa Valentayini

Added 14th February 2017

Okubeera wekka nga munno ali bunaayira ku lunaku lwa Valentayini obeera ng’ali ku kibonerezo.

 Abaagalana nga boogereganya ku Skype

Abaagalana nga boogereganya ku Skype

KU lunaku lw'abaagalana olwaleero, buli muntu ali mu mukwano ayagala alumaleko ng'ali n'omwagalwa we banyumirwa.

Naye olowooza kiba kitya ng'oli mu mukwano gw'ewala?

Okubeera wekka nga munno ali bunaayira ku lunaku lwa Valentayini obeera ng’ali ku kibonerezo.

Abaalugera balutuusa nti egindi wala, nga teri wuwo baali batuufu. Olugero luno lutuukira bulungi ku baagalana abali mu mukwano guno.

Matiya Luwambo (Ssaabasomesa) omukugu mu kubudaabuda abafumbo mu Kigo ky’omu Ndeeba agamba nti, "omwagalwawo okubeera ebunaayira tekikusibisa mitaafu mu kyenyi ku lunaku luno kubanga lwa njawulo nnyo mu mwaka.

Bino wammanga bye bimu ku bintu by'oyinza okukola okusobola okuluyitamu ng'oli musanyufu;

1.Akasimu; Keera ku makya omukubire akasimu k'omukwano akamuzuukusa;

Beera omuntu asooka omwagalwa wo gw’alina okuwuliza ku lunaku luno, buli omu awulire ku ddoboozi lya munne nga terinaggwamu ttulo kubanga liba limunyumira okuwulira era kakasa nti eddoboozi lyo ly’asembayo okuwulira.

Bw’omukubira essimu muwaaneko nga bw’omwagala. Ajja kumalako olunaku lwonna nga musanyufu ng’awulira ng'owenjawulo ekimukakasa nti omwagalira ddala. Olunaku luno essimu eba terina kuvaako.

2.Muweereze ssente yeegulire ekintu ky’asinga okwagala; Mubuuze ky’asinga okwagala omuweereze ssente akigule.

Bw’aba aguze olugoye, alwambale oba engatto yeekubye ekifanaanyi akikusindikire oba akulage akatambi.

3.Muweereze obubaka bw'omukwano; Oyinza okumuweereza essaala erimu ebigambo ebisimbuddwa mu kitabo ekitukuvu nga bimugumya mu mutima n'okumukuumira mu mukwano okutuusa bwemunaasisinkana.

Oyinza n'okuyiiyayo obugambo obusonsomola obuwaana omwagalwawo oba okubukolamu ka firimu akatonotono ng'omutottolera omukwano gw’owulira gyali okamuweereze ku lunaku luno, ajja kanyumirwa nnyo n’okukaddiηηana obulamu bwe bwonna.

4.Oyinza okugendako awutu ku kijjulo eky'ababiri ; Richard Kimbowa omukugu mu kubudaabuda abaagalana okuva mu Kimbowa Research Centre agamba nti eky’okubeera nga munno ali bunaayiro tekitegeeza nti temusobola kubeera mwembi. Ku lunaku luno, oyinza okwewuunyisa omwagalwawo n’omutwalako awutu ku kijjulo eky'ababiri.

Tumya emmere omwagalwawo gy’asinga okuwoomerwa, saba emmere y'ababiri oba essowaani emu bw’oba tolina ssente n'oluvannyuma omukubire essimu eraga akatambi "video chat".

Lya nga naye bwomuliisa ku katambi nga bwe munyumya n’oluvannyuma munywe kawayini oba omubisi nga naye bwomunywesaako.

Kijja kumwewuunyisa nnyo ate nga bwe munyumirwa era byebimu ku byajja okulwawo ng'ajjukira mu mukwano gwammwe.

2.Muweereze vidiyo y'oluyimba ng’oyimba; Abaagalana abasinga abali mu mukwano balinayo oluyimba lumu olubagatta olusinga okubanyumira.

Ku Valentayini eno, twala obudde oluyige n'oluvannyuma weekwate akatambi ng'oluyimbira omwagalwawo, olumuweereze.

Mu ngeri y'emu bwe muba temubeerangako mwenna bulyomu kuyiga munne, oyinza okuyiiya akayimba k'omukwano akamuwaana oba okugegeenya akayimba akalimu obubaka obumuwaana n’okamuyimbiramu n'oluvannyuma omuweereze akatambi, muja kunyumirwa olunaku luno.

Muweereze oluyimba lwasinga okwagala oba olw'omukwano lwonna ku leediyo; Oyinza okusaba oluyimba lw'omukwano n’oluweereza omwagalwawo ku lunaku lw'abaagalana ng'okukozesa omukutu gw’asinga okuwuliriza, okumutumira n'obubaka bw'omukwano obumususuuta, kiraga nti omufaako. Mwejjukanye ku birungi bye muyiseemu mu mukwano gwammwe.

Olw’okuba munno ali wala, oyinza okukozesa ku mikutu gy'ebyempuliziganya nga whatsapp, viber, instagram, facebook oba okumukubira essimu.

Mutonere ekitereke ky'ebirabo oba ekisaaganda ky'ebimuli nga takisuubira; Oyinza okusalawo okukozesa omu ku mikwano gy'omwagalwawo oba omuntu amuli ku lusegere okumutonera ebirabo.

Bino muyinza okubiteeka mu kisenge kye n’abisangamu oba okubiyisa mu muntu gw’atamanyi n’abimuleetera. Wabula okusobola okumanya bw’awulira, mukubire essimu obiwereekeze n'obugambo obunyuvu, ajja kusigala ng'akuyaayaanira.

Andrew Benon Kibuuka omuwandiisi wa mizannyo egikwata ku mbeera z’abantu ez’enjawulo ne ku mikwano akuwa bw’oyinza okukola ssinga obeera tosobodde kuluyitamu na mwagalwawo.

  • Genda olabe emizannyo gya katemba. Wabula bw’ogendayo fa ku kikututte ojja kulaba ng’osanyukira wamu nabo abalina abaabwe okwefaanaanyirizaako abalabi b’omupiira. Oli agenda mu kibanda nga talina gw’amaanyi naye bwe bateeba ggoolo mwenna musanyukira wamu nga abeemanyi.
  • Oyinza n’okukwata akatambi n’okaweereza munno. Lowooza ku ssente z’otaasizza okusaasaanya Ku lunaku luno bangi bakozesa ssente nnyingi nnyo nga balowooza nti bajja kubeera baganzi nnyo eri abo be baagala kati gwe bw’oba munno taliiwo weeteeke mu mbeera nti owonye okusaasaanya omudidi ku lunaku luno ojja kuluyitamu bwomu nga tojuze.
  • Beera musanyufu Bw’okimanya nti omwagalwawo ali bweru oba walako, fuba okulaba nga weeteka mu mbeera ey’essanyu. Kitwale nti toli wekka ali bwatyo. Ssinga weteeka mu mbeera nti toli omu wekka atalina mwagalwa , kijja kukuwa obuvumu obuteekubagiza. Wenyigire mu dduyiro Ku lunaku luno ng’omwagalwawo ali bweru weenyigire nnyo mu kukola dduyiro , gamba ng’okudduka, osobola n’okugendako n’okuba eddubi (okuwuga). Bino bikuyamba okussa ebirowoozo byo ku ekyo kyokola okusinga okulowooza ku mukwano gwo ali emitala w’amayanja.

OKULABULA Ate ye kansala Fred Mutaawe abeera e Mityana agamba nti olunaku luno abantu balina okulukwata n’obwegendereza era nga ssinga kakutanda n’oba nga tolina mwagalwa, togezaako kulowooza nti ensi ekomye.

Waliwo abanywa ne bagangayira okukakkana nga bamubbyeko byalina, oluusi bagwa mu mmotoka, abamu ne babasobyako nga balowooza nti omwenge gumala ekizibu.

Sigala awaka okitwale nti lulinga ennaku eza bulijjo, ojja kulaba ng’olumalako tofunye buzibu bwonna.

Tekyandibadde kirungi gwe atalina mwagalwa ku lunaku luno okwenyigira mu kulaba pulogulaamu za Valentine ezibeera ku ttivvi, leediyo oba ku mukutu gwonna.

Kino kijja kukwonoonera embeera yonna otuuke okulowooza ku bintu by’otaasobole kufuna.

Abantu ssinga babeera beefuula abakulumirirwa olw’ensonga nti oli bw’omu. Balage nti ekyo kiva mu kusiima kwo era naawe kijja kukugumya omutima.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...