TOP
  • Home
  • Ssenga
  • 'Valentayini namufunira ku Bukedde Ttivvi'

'Valentayini namufunira ku Bukedde Ttivvi'

Added 14th February 2017

MPULIRA neesunze nnyo valentayini eyomulundi guno okukira endala zonna ze nzize mbeerako.

 Mukooza ne muganzi we gwe yafuna ku Valentayini ya 2016.

Mukooza ne muganzi we gwe yafuna ku Valentayini ya 2016.

“ MPULIRA neesunze nnyo valentayini eyomulundi guno okukira endala zonna ze nzize mbeerako. Kino omuntu andaba tayinza kukitegeera naye ndaba olunaku ndulimu munda ndwetisse. Era nze ne “sexy” wange, valentayini eno ngiraba ng’okwanjula kwaffe kubanga gwe mulundi gwange ogusooka okujaganya olunaku lw’abaagalana nga ndi n’omukyala gwe njagalira ddala,” bwatyo Mukooza bwagamba.

Kenny Mukooza abasinga gwe bamanyi nga ‘designer” era nga mutuuze w’e Ndejje Lubugumu agamba nti yatandika okwetegekera olunaku lw’abaagalana mu mwezi gwa July, omwaka oguwedde.

“Nasooka kunoonya ngatto ne ngiteeka ku bbali kyokka ate bwe naddayo ne ndaba egisingako nayo ne ngigula era oluvannyuma ne ntandika okuyiiya engoye.

Nategeka engoye za mirundi esatu oluvannyuma ne nnondako ezisinga okulabika obulungi n’okunnyumira.

Kyokka ebyo byonna we nabikolera nga bwe nnoonya omubeezi ananfumbira eddigobe ate ng’alabika bulungi era ng’anyumira ebyambalo.

Oluvannyuma lw’okulabikirako ku Bukedde ttivvi, gye nazuulira mwana muwala, Elizabeth Babirye ne musiima era ne tutandika okusisinkana nga kati tubeera ffembi naddala mu nnaku ezitali za kukola.

Bwe yansiima ne ntandika okumutungira ebyambalo bya valentayini . Era nga tugenda kulumalako ffembi nga tupepeya.

Valentayini eno ya byafaayo nnyo gyendi kubanga gwe mulundi gwange ogusooka okulumalako n’omukyala andi ku mutima.

Ennyumba yange yonna ngitimbisizza langi mmyuufu n’enzirugavu naddala entebe, entimbe, akatimba k’oku buliri, amasuuka n’ebyebikkwa byonna okumukakasa nti nze musajja alina laavu gye yeetaaga mu nsi yonna.

Era okuva lwe yanzikiriza, ηηenda kumulaga abantu bange bonna n’eggwanga lyonna kuba luno lwe lunaku lwe mbadde nninda bulijjo okulaga abantu bange bonna omukyala gwe nafunira ku Bukedde era ndi mu nteekateeka za kumwanjula mu bakadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Eby'emmotoka ya Bobi Wine b...

EBY'EMMOTOKA ya Bobi Wine etayitamu byasi byongedde okuwanvuwa ab'ekitongole ekiwoza omusolo bwe bategeezezza nti,...

Minisita Ssempijja ng'ayogera eri abalimi ba vanilla.

Abalimi e Lwabenge balaajan...

ABALIMI ba vanilla mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu beekubidde omulanga ewa Minisita avunaanyizibwa ku byobulimi,...

Shariff Lubega agambibwa okukwatibwa n'enjaga.

Azze okulaba omusibe bamuk...

OMUSAJJA abadde azze mu kkooti y'amagye e Makindye okweyimirira omusibe akwatiddwa lwa kusangibwa n'emisokoto gy'enjaga...

Enanga ng'alaga butida ababbi ze bakozesa.

Poliisi erabudde ku kabinja...

POLIISI erabudde abagoba ba mmotoka okwegendereza akabinja k'abavubuka akayinza okubakolako obulumbaganyi mu bulippagano...

Sheikh Ali

Abasiraamu mugondere amatee...

ABAKULU ku kitebe ky'Obusiraamu mu ggwanga bavuddeyo ne batangaaza nti Eswala ya Taraweeh ey'ekisiibo ky'omulundi...