TOP

Balamu bange bannemesa obufumbo

Added 18th February 2017

Oluggulawo atandika kuyomba nga bw’annangira obwenzi ssaako n’okunkaka akaboozi ng’ayomba okutuusa obudde okukya ssaako n’okunkuba naye nze namukoowa era saagala kuddamu naye wabula kye njagala agambe ku mukyala we akomye ejjoogo alekeere awo kujja ewange.

 Namakula

Namakula

NZE Justine Namakula nnina emyaka 30, mbeera Maganjo naye ekizibu kye nnina be balamu bange abeegasse ne muggya wange ne bannemya obulamu.

Nnina balamu bange babiri, omukyala n’omusajja nga bonna omwami wange yabaggya mu kyalo n’abaleeta awaka.

Mulamu wange omusajja we baamuleetera nga mulwadde era nze nnamujjanjaba, ate ye omukazi n’amufunira ssente atandike okukola.

Omwami wange tumaze naye emyaka etaano era tulina abaana babiri. Mu biseera nga tetunnatandika kubeera na balamu bange, twali tuli bulungi, wabula bwe bajja omusajja n’akyuka.

Yatandika obutalekaawo ssente za mmere kubanga mulamu wange yali amugambye nti mbafumbira kawunga buli lunaku, nga buli lw’akomawo awaka atuukira mu kuyomba.

Balamu bange baatuuka ekiseera ne bakyuka ne batandika okundiisa akakanja.

Baatandika okupangira omwami wange omukazi omugagga ng’alina n’amayumba g’abapangisa nga bamugamba nti nze ndi mukadde ate sirina ssente.

Baatandika okunvuma nga bwe bangobaganya awaka, era bwe baalaba nga sigenda kwe kugamba omwami wange n’atuleka mu nnyumba ne bamufunira omuzigo e Kawempe.

Mulamu wange teyakoma awo yagenda ewa bboosi wange eyali ankozesa n’amugamba nti ndi muzibu nnyo, ndi mubbi era angobe. Mukama wange yangoba ku mulimu era ne mmala ebbanga nga sikola.

Naye oluvannyuma nafuna ssente ne nteekawo bizinensi nsobole okulabirira abaana bange kubanga omusajja we yagendera baali batubanja ssente z’ennyumba emyezi ebiri era ne nzisasula.

Baatandika okunsoomooza nga bakozesa muggya wange okunvuma. Muggya wange yatandika okunnangira nti omusajja yandekawo kuba ndi mukadde.

Okumanya muggya wange ammanyiira, ajja ewange n’asitula abaana bange n’abatwala ewuwe bwe mbanonayo n’abagaanira bwe nnyomba ng’agamba nti naye maama waabwe kubanga twagala omusajja omu.

Okumanya omukazi oyo mujoozi, awaka alinayo omusajja era mufumbo, n’olumu bba yamusanga ne baze n’abakuba naye era omukazi yagaanira ku baze.

Ate omwami talina ky’addamu alinga gwe baawunza. Ajja buli kiro ewange ng’agamba nti azze kulaba ku baana n’akonkona, bw’alaba siggulawo ng’atandika okukuba oluggi ate nga lwa ndabirwamu ne ntya nti ayinza okulwasa awo ne muggulira.

Oluggulawo atandika kuyomba nga bw’annangira obwenzi ssaako n’okunkaka akaboozi ng’ayomba okutuusa obudde okukya ssaako n’okunkuba naye nze namukoowa era saagala kuddamu naye wabula kye njagala agambe ku mukyala we akomye ejjoogo alekeere awo kujja ewange.

Gye buvuddeko muggya wange yajja awaka n’asitula omwana wange n’amutwala, bwe nnamunona n’amugaanira.

Oluvannyuma bba wange n’amundeetera olwatuuka awaka n’ayomba nga bw’ankuba empi, nange kwe kumukuba.

Nnalumba ne muggya wange ne mmukuba ne bandoopa ku poliisi. Tewali yannyamba kuba mulamu wange yennyini ye yampaako obujulizi nti ndi mutemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

SPC Faizal Katende.

SPC Faizal Katende eyakwati...

OFIISA wa poliisi SPC Faizal Katende asabye kkooti emukkirize okuyimbulwa ku kakalu ka`ayo. Bino Ssentebe wa kkooti...

Ssentebe Sserwanga (alina enkumbi) ng'atema evvuunike ly'okuzimba eddwaaliro.

Gavumenti ewadde ab'e Kayun...

GAVUMENTI ewadde ab’e Kayunga obukadde bw’ensimbi 600 okugaziya eddwaaliro lya Busaale mu ggombolola y’e Kayunga...

Ssaabadinkoni w'e Ndeeba mu Bugerere, Ven. Balamaze (akutte akazindaalo) ng'atuuza Rev. Ssendege (ku ddyo).

Bannaddiini mubuulire enjir...

SSAABADINKONI w’e Ndeeba mu Bugerere, Ven. Edward Balamaze akuutidde Bannaddiini babuulire enjiri ekumakuma abantu...

Sserwadda n'ekifaananyi kya Ssengendo.

Omuyizi eyabuze atadde abaz...

Omuvubuka ow’emyaka 17 eyavudde e Mukono okunona densite ye ku ssomero n’abulira mu kkubo atadde bazadde be ku...

Wanyoto (atudde) n'abamu ku balooya be.

Munna NRM Wanyoto akubye ak...

Munna NRM eyawangulwa ku kifo ky’omubaka omukyala owa Mbale City, Lydia Wanyoto addukidde mu kkooti Enkulu e Mbale...