TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja tomuleka kubeera mu kiwuubaalo

Omusajja tomuleka kubeera mu kiwuubaalo

Added 21st February 2017

Mwana wange olina okulondako, oyagala bufumbo oba oyagala ssente oba oyagala byombi?

EBBALUWA YA SSENGA; MWEBALE embaga era twasanyuka nnyo. Wabula nabaddeyo awaka nga tonnaba kudda.

Natidde kubanga omwami waffe yaηηambye nti okomawo ssaawa ttaano ez‛ekiro buli lunaku era oluusi okomawo nga yeebase. Waηηamba nti otunda ngoye mu katale ekitegeeza nti weekozesa.

Ate nalabye ng‛omwami waffe abeerawo yekka ng‛akulinda era namusanze afumbye kacaayi ng‛ali ku ttivvi.

Mwana wange sigaanyi olina okukola naye ate ssente ozaagadde luno! Mwana wange okusookera ddala olina okumanya nti kati oli mufumbo. Olina okukyusa mu mpisa.

Munno mugole nga ggwe era yeesunga okukulabako ng‛akomyewo nga weetala era nga weetalira ye.

Naye kati akomawo n‛abeera ku ttivvi ate ng‛ayagala kubeera naawe.

Ate bw‛okomawo nga yeebase weebuuze aggya wa amaanyi okwegatta naawe? Nsuubira naawe obeera mukoowu olwo onoofuna otya amaanyi okwegatta naye?

Mwana wange olina okulondako, oyagala bufumbo oba oyagala ssente oba oyagala byombi?

Nze ndaba kati oyagala ssente. Omwami waffe yasalawo okukuwasa, naye manya abawala bangi abaagala okufumbirwa era ayinza n‛okutandika okufuna ebirowoozo okufuna anaamuwonya ekiwuubaalo nga tonnadda.

Oba okufuna omuze okuyitira ku bbaala oba mu bibanda okulaba omupiira nga bw‛akulinda, n‛okufuna emize emirala egijja okukosa amaka gammwe.

Tandika okudda awaka nga bukyali okole by‛olina okukola mu bufumbo. Weekozesa ekitegeeza nti osobola okukyusa mu mbeera naye obufumbo ogenda kubufi irwa.

Ky‛olina okumanya nti teri musajja anyumirwa kukomawo waka ng‛ennyumba emutunuulira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...

Omwami w’eggombolola y’e Ngogwe, Livingstone Kisekka (ali mu kyambalo okuli engabo) ng’alaga Omulangira Wasajja (mu ssuuti wakati)amakula ge baaleetedde Kabaka.

Wasajja ajjukiza Gavumenti ...

OMULANGIRA David Kintu Wasajja agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu olwa gavumenti okuba nti ekyagaanye...