TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Emize gy'abasajja eginyigiriza abakazi mu bufumbo

Emize gy'abasajja eginyigiriza abakazi mu bufumbo

Added 28th February 2017

ABAKAZI abamu bali ku maggwa mu bufumbo bwabwe olw’emize gy’abasajja egibamalako emirembe.

 Abaagalana baasangiddwa Kavumba Recreation Centre, Wakiso nga badigida.

Abaagalana baasangiddwa Kavumba Recreation Centre, Wakiso nga badigida.

ABAKAZI abamu bali ku maggwa mu bufumbo bwabwe olw’emize gy’abasajja egibamalako egya Nakakaawa (emirembe).

Wammanga gye gimu ku mize gino.

1 Abalwa ebweru: Omusajja alwawo okudda awaka amalako emirembe. Abasajja abalina omuze guno mulimu abawoomerwa omwenge, abanyumirwa olwali, abanyumirwa emizannyo nga Ludo, omupiira, puulu n’emirala. Ab’ekika kino bamanyi n’okudda eka amatumbibudde nga n’oluusi obudde busasaana. Bwe batuuka awaka ate ne bacankalanya be basanze nga beebase.

2 Abagula bidduka ebikadde: Abasajja abagula ebidduka ebikadde bamalawo essanyu mu maka. Omusajja ayinza okugula pikipiki oba mmotoka eyava edda ku mulamwa olwo buli kasente k’afuna n’akamalira okwo. Omukazi n’abaana aba takyalina ‘bajeti’ yaabwe olwo ne banyigirizibwa by’otalabanga ne batuuka n’okusaba omunnyo mu baliraanwa anti nga buli kasente k’afuna akateeka ku mmotoka olwo ab’awaka ne basigala nga beeyaguza luggyo ate nga tebalina kyakumugamba.

3 Abatalya mmere waka: Omusajja atalya mmere waka tayinza butamala ku munne ssanyu. Waliwo abasajja nga bamala emyaka n’ebisiibo nga tebamanyi mmere efumbiddwa mu ntamu y’awaka bw’ewooma. Ab’ekika kino oluzuukuka atambula butambuzi ate n’adda ng’abwegedde. Ogumu ku mirimu gy’omukazi awaka kwe kufumba kyokka by’afumba munne bw’atabiryako na kumukulisa tayinza kusanyuka.

4 Abateeyonja: Waliwo abasajja abatatwala budde kweyonja na kwefaako mu ngeri esikiriza. Mu ngeri eno omusajja ayinza okunaaba lw’ayagadde sso nga nga munne bw’amugambako alufuula luyombo. Omusajja ow’ekika kino tekimugaana kuyingira buliri nga yenna attunka olwo munne n’asoberwa.

5 Omusajja ow’omululu: Mu butonde waliwo abasajja abalya ng’abaasimattuka Kkunsa. Omusajja ow’ekika kino amanyi n’okuyombera emmere entono. Bamanyi n’okulingiza mu ntamu n’oluusi okugaba enva naddala ez’ennyama, enkoko oba ekyennyanja.

6 Omunafu: Waliwo abasajja abatakwata ku mulimu gwonna waka. Ow’ekika kino ate bw’atuuka mu kucunga akwata kisooka. Oluzuukuka ayagala asange nga buli kimu kiri ku mmeeza omuli engoye z’agenda okwambala wamu ne caayi. Ate bw’adda awaka ayagala amazzi agasange mu kinaabiro ne kalonda omulala. Mu bimpimpi akirako omwami Ow’essaza mu maka nga talina k’asobola kwekolera.

7 Abazaala ebbali ne baleeta awaka: Omusajja azaala nga bw’aleeta awaka taba mwangu. Bano baba n’eηηombo egamba nti abaana baabwe tebakulira bweru bwe batyo buli gwe bazaala ne baleeta. Ab’ekika kino nno okuggyako okuleeta abaana tebabaleeterako buyambi bwonna olwo omukazi n’abatetenkanyiza buli bbanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...