TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Nakirijja obucaafu bujja kugoba omusajja awaka

Nakirijja obucaafu bujja kugoba omusajja awaka

Added 28th February 2017

Kati bwe wazaala kitegeeza nti ennyumba erina kuwunya musulo na bubi bwa mwana?

 Omuyimbi eyakazibwaako erya Gacia nga bali mu mukwano ne Shakira Kirabo mu biseera byaabwe eby’eddembe. Batuuze b’e Kawempe.

Omuyimbi eyakazibwaako erya Gacia nga bali mu mukwano ne Shakira Kirabo mu biseera byaabwe eby’eddembe. Batuuze b’e Kawempe.

MWANA wange natuuse awaka ne nsoberwa. Ate nabadde sisobola kwogera ng‛omwami waffe waali. Mwana wange Nakirijja ng‛oli mucaafu!

Kati bwe wazaala kitegeeza nti ennyumba erina kuwunya musulo na bubi bwa mwana?

Omusajja tomugobe awaka ate sirowooza nti afuna n‛amaanyi okwegatta naawe.

Okubeera nnakawere tekitegeeza kubeera mu- TERI maka agatabeeramu buzibu era ekyo njagala Jack okimanye.

Oba wazaala omwana naye n‛osirika kati omwana atuuse n‛okuwasa nga munno tamanyi ekyo kikyamu.

Nkimanyi nti munno kigenda kumuyisa bubi naye ate n‛okusirika okumala ebbanga nga munno tamanyi kizibu kya maanyi.

Ekisookera ddala, omwana ono munno yamusanga wamuzaala dda kati lwaki osirika ku mbeera eno.

Ate oba n‛abazaala abaana nga bafumbo era tebasirika.

Mwana wange omwana ono nga bw‛akugamba nti ayagala okumanya bagandabe, tomanyi ky‛ategese. Ekirala omwana ono kubanga mukulu ate ng‛ali bulungi sirowooza nti asobola okukola ekizibu ku baganda be.

N‛ekirala oba otya nti omwana ono ayinza okukaayanira ebintu byo, kimanye nti omwana ono alina omugabo kubanga mwanawo.

Olw‛okuba teyakula naawe ate n‛omufuula ekyama tekitegeeza nti tomulinaako buvunaanyizibwa. Ono mwana wo ddala ng‛abo abato b‛olina.

Ate mwana wange abasajja bangi balina abaana b‛ekivubuka, era babeera nabo tebabafuula kivve nga ggwe bwe wakola. Ono mwanawo ddala, muwala waffe alina okumanya oba oyagala tukuyambe tumubuulire tutegeeze.

EBYA laavu tobitaputa kifuulannenge bw’oba onaagiwangaaza. Bwe muba mu kaboozi nga munno ayimba oluyimba lw’eggwanga n’atandika okusinda nti ‘..o-nz-i-ta..!”

nga bwe batera okukaaba ng’akaboozi kakutte omubabiro, sooka omutunule mu mmunye nga tonnayongeza ndiro. Kubanga ayinza okuba ng’afunye ‘muscle pull’ oba ng’omukutte awakyamu oba ng’aziyidde.

Kati ggwe bw’olowooza nti alimba, n’oyongeza endiro nga tomaze kwetegereza, munnange munno akyayinza okukukutukirako mu kifuba. Ate n’okaaba nesse nzekka!

Kye kiva kiba ekirungi akaboozi okukanyumiza mu ttaala. Nga mwerabako mu maaso. Eby’ensonyi bye mulina okuvaa- Ssenga caafu.

Omusajja ayinza n‛okutya okulya emmere yo olw‛obucaafu. Okusookera ddala mwana wange olina okulaba ng‛oyoza engoye z‛omwana encaafu buli kiseera.

Bw‛oba tosobola kuzoolezaawo, zinnyike naye ate olina okusooka okuzikunyamu. Tozinnyika nga zirimu obubi, ate bw‛oba ozinnyise tozirwisaawo nnyo nga tonnazooza.

Ekirala omwana ssinga afuuyisa, olina okukyusa engoye ze mangu era encaafu ziggyeewo oziteeke mu mazzi.

Ekirala olina okwambala akaleega era mu kaleega teekamu ekiwero nga kiyonjo.

Amabeere ssinga gayitirira ne gasaanuuka, ekiwero kiyamba amabeere ago obutasala mu lugoye kubanga bwe gasala gakulabisa bubi ate jjukira gavaamu n‛akasu.

Tolina kuwunya mabeere olw‛okuba oyonsa, omusajja ajja kukwetamwa era n‛eby‛okwesanyusa bimutamire ddala.

Olina okumanya nti nnakawere yenna tava mu bbaafu kubanga alina okwoza buli kiseera okukuuma obuyonjo. Kale totereka ngoye ncaafu mu nnyumba.

Ate naawe nga nakawere olina okunaaba buli ku makya era n‛olweggulo oleme kuwunya lusu.Nja kuyitayo nkulabe w‛otuuse.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...