TOP

Abooluganda lwa baze batugobaganya

Added 2nd March 2017

NZE Getrude Ndagire, 31 essaawa eno mbeera mu Para Zone e Namasuba.

Namala ne baze omukulu emyaka mwenda nga twalabagana mu 2008 era ebbanga eryo tebyali byangu.

Twayagalanira ebbanga okukkakkana nga nfunye olubuto era omwana wange asooka namuzaalamu 2008.

Terwali olwo ne nziramu ne nfuna olubuto olulala mu 2013 ne nzaala era nga tubeera fenna e Namasuba gye twali tupangisa mu kusooka.

Mu 2014, baze yatandika okukyuka era mu biseera ebyo we yansuulirako mwanamuwala Omugisu.

Kino kyannuma era amaziga nagakaaba. Mba nkyakaaba ate laba bw’angoba mu nju nti agyagalamu mukyala muto. Engeri gye saagala ntalo, nakwatamu ebyange ne ηηenda ntandike obulamu obupya.

Byonna bye twali tukoze ne baze ne mbimulekera beeyagale ne mukyala muto. Baba baakamala omwaka gumu nga bazadde n’omwana, baze ate n’akomawo gyendi.

Mu biseera ebyo nnali mbeera Wakasanke naye ng’ampa obuyambi wadde nga tebwali bungi, kuno nga kwe nkozesa buli kimu. Bwe yakomawo, ate naddamu buto okunsuuta nange amaaso ne gaziba. Twasenguka gye nnali mbeera ne tudda e Busega era eno gye nnazaalira omwana owookusatu mu 2016.

We twabeerera e Busega we twazimbira ennyumba yaffe e Namasuba olwo ng’omukyala yamugoba dda ng’amaze okumuzaalamu omwana.

Ennyumba yaffe yaggwa ne tuteekako n’emizigo munaana era nga byonna tukolera wamu ne baze. Nasigala Busega nga njiiya ssente ate baze ng’abeera Namasuba n’abaana.

Mu December wa 2016 nga 6, baze yafa ne tuziika era olwavaayo ne nzira e Namasuba gye mba mbeera kuba ennyumba gye nnali mbeeramu e Busega, baze ye yali agisasula.

Bwe nadda e Namasuba, balamu bange ne bandagira nzireyo e Busega bajja kumpa obuyambi kye saamanya nti bangoba bbo kweddiza bintu. Bwe nadda e Busega, waayita ebbanga nga tewali kye bampa ate nga n’abaana baali banneegasseeko ne nnemererwa okutuusa landiroodi bwe yatugoba.

Twaddayo mu maka gaffe e Namasuba, baganda ba baze ne batugoba kuba ne mukyala muto yali azze nga bagamba nti tewali mukyala yenna gwe baagala mu nju.

Nababuuza awookuteeka abaana abasatu be nnina kyokka nga bawoza kimu nti bajja kunzita ssinga siva mu bintu byabwe.

Nagenda ku poliisi ne babanga abakkirizza naye baagaana okundeka ne muggya wange wange okubeera obulungi Kati abaana beetaaga okusoma naye sirina ssente ate balamu bange wamu ne nnyazaala wange bangoba sirina waakudda. Simanyi kya kukola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...