
Nnaalongo Nalule
Wabula nawulira lugambo nti yafunayo omulala. Nze Nnaalongo Immaculate Nalule ow’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso.
Olwatuuka nga nsisinkana musajja makanika (David) mu bitundu by’e Mutundwe mu Kampala era omukwano gwali gutusaza mu kabu.
Ssaalwa nga nfuna lubuto lwa balongo era nasanyuka ebyensusso. Nga ntuuse okuzaala nagenda e Mulago gye nazaalira Nakato ne Babirye.
Bino byaliwo mwaka guwedde nga August 15, 2016 kyokka waayita emyezi ena ssaalongo n’adduka era ssiddangayo kumulabako kuba essimu ye yagiggyako ne we yali apangisa n’asengukawo.
Nawulira nti yafuna omukazi omulala wadde eby’okumulondoola nabivaako ne nsigaza kulabirira baana bange.
Neebaza Katonda nti akyatuwa eky’okulya n’abaana bange.
Kati ndi mu maka ga bazadde bange ge baatulekera e Nansana kuba bombi baafa.