TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Engeri omukazi omufumbo gye weggyamu ensonyi mu kisenge

Engeri omukazi omufumbo gye weggyamu ensonyi mu kisenge

Added 9th March 2017

BULIJJO abakyala abafumbo babagamba okweyisa obulungi mu nnyambala, endabika n’entambula nga bali ku mirimu gyabwe ne mu bifo eby’olukale, wabula bwe kituuka mu kisenge yandibadde teyeemotyamotya.

 Omukyala ng'anoonya omwami

Omukyala ng'anoonya omwami

Kino tekitegeeza nti tosigalamu ka buntu wabula tolina kwekwatakwata wabula olina okubeera omukalu ekimala kuba ekyo abasajja bakyagala nnyo.

Muky. Raphaelina Nakabuubi aludde ng’abuulirira abakyala abafumbo agamba nti; Omukyala yenna ayagala okukuuma obufumbo bwe n’okufuna essanyu mu maka talina kutwala nsonyi mu buliri.

Abakyala abamu balowooza nti bwe banaatwala obukodyo bw’omukwano mu buliri omusajja ajja kumulaba nga malaaya. Ekyo ky’olina okubeera mu kiseera ekyo era weeyambule ensonyi onyumirwe ekyakututte mu kisenge.

“Abakyala abafumbo okutwala ebirowoozo mu buliri nga mwetya olw’omugejjo, oba oli mutono oluusi ne weekomomma ng’olowooza ku nkovu gy’olina ku kisambi ng’ogamba nti omusajja gy’atunuulidde oba mugaba akujjudde ku bisambi ne ku kabina, ebyo tebikola kuba yagenda okukuganza ng’amanyi sayizi yo, era gikozese okutuukiriza ekyo ekikututte. Okusobola okutuuka ku kino Nakabuubi agamba nti;

1 Kirungi ebirowoozo n’obwongo byonna obisse ku kikututte mu buliri osobole okutuuka ku ntikko y’omukwano. Munno bw’aba alina w’atakutte ng’owulira nti we wava obusimu, osobola okukyekola oba okumulaga ekkubo. Era bw’aba alina ky’akola n’owulira nti ocamuse era mugambe ate omwebaze.

2. Okuyiga omubiri gwo. Ssinga weetegeera bulungi, kijja kukuleetera okunyumirwa ekisenge. Tolowooza nti bamalaaya abalenga akaboozi be bokka abalina obukodyo. Ebintu byonna bye bakola n’omufumbo osobola okubikola munne n’awoomerwa omukwano. Okuyiga omubiri gwo kitegeeza okumanya ebifo ebikusumulula era kiba kirungi n’obimugamba, aleme kuteebereza. Kino kijja kubayamba mwembi, kubanga ajja kwanguyirwa okukusanyusa ate nga naawe ofunamu.

3 Ssenga Hamidah Namatovu nga naye abuulirira abaagalana agamba nti; Omukyala omufumbo okweyisa nga malaaya mu buliri asookera ku nnyambala. Obugoye bulina kuba bumpi ddala era nga butangaala. Kino kireetera omwami okuguma n’afuna w’atandikira okukugambako. Agamba nti waliwo n’ebika bya kalifuuwa ebimu nga binafuya ku bwongo ne bumalamu omukazi ensonyi. Zino kyandibadde kirungi omukyala okuzeefunira.

4 Enjogera nayo erina okukyuka ssaako ennonda y’ebigambo by’ayogera nga bali mu mukwano. Enkola y’okwogera ng’ebigambo bikutukakutuka eyanguyira bangi ate nga tekaluubiriza, ate ng’enyumira amatu ekyongera omusajja apetayiti emirimu ne gigenda bukwakku.

5 Agattako nti abakyala ng’oggyeeko ekikolwa kyennyini, naye ebintu ebirala nga engeri gy’oyalamu obuliri nayo erina okuba ng’esikiriza. Omusajja bw’ayingira mu kisenge nga buli kiseera asangamu ekipya talaba nsonga lwaki addukira ewa bamalaaya abatonaatona obuliri okusikiriza abasajja. Osobola okussako obumuli bw’omutima, langi z’omwami z’asinga okwagala n’okuyiwamu ku pawuda. Ettaala z’oteeka mu kisenge nazo nkulu kuba bw’ebeera n’ekitangaala ekisikiriza amaaso munno bw’ayingira amanya nti omwetegekedde, era kizibu naye obutakukolera ky’oyagala.

6 Engeri gye weekolako nakyo kikulu. Abakyala abo abalenga ogw’ensimbi bafuba okwenyiriza munda ne ku ngulu. Kino kitegeeza nti naawe olina okwekuuma ng’oli muyonjo ekiseera kyonna, munno aleme kukwenyinyala mu mbeera yonna. Ate ekirala bwe weekolerako munno ng’oli mu kisenge amanya nti olina ky’omusuubiramu era naye kijja kuba kizibu obutakikukolerako ne munyumirwa omukwano.

Abaagalana nga bali mu mukwano

 

7 Isaac Mwesigwa, omubuulizi mu kkanisa ya Katwe Martyrs’ Church mu busabadinkoni bw’e Mengo agamba nti omukyala omufumbo alina okwewala ensonyi mu kisenge. “Waliwo abakyala abatasikiriza n’akamu mu kisenge.

Okugeza osalawo otya okubeera nga buli tawulo gye weesiba ng’oli mu kisenge ebeera ekubuna wonna okutuukira ddala ku bukongovvule? Bw’agyesumulula ne yeesogga ekisenge n’aggyako ettaala ne yeebikka n’omutwe, olwo ow’ekika ekyo ayinza atya okunyumirwa omukwano?” Agamba nti abalala beesiba leesu mu kisenge ne batuuka n’okusula nga bazeesibye.

Omukazi omufumbo ateekeddwa okubeera n’obugoye obusikiriza amaaso. Balo bw’aba tabukugulidde, ggwe bwegulire, bwe bunaamusanyusa ojja kulaba nga naye olw’olumu akuguliddeyo.

Abakyala abamu balina obukambwe mu kisenge ebintu ne babikola nga tebafaayo n’atuuka n’okugamba omusajja nti bw’omala ombikke, malaaya gw’asanze mu kkubo tasobola kugamba kino musajja era ajja kumuggyirayo obukodyo bwonna gwe akambuwala amaka gakufe.

Ate Esther Sevviiri Nantaba omusomesa era ng’abuulirira abakyala n’abaami abagenda okufumbiriganwa mu Martyrs Church e Katwe ekimu ku by’olina okukozesa mwe muli olulimi olusikiriza ate nga n’ebigambo okozesa ebyo byennyini so ssi kubisabika, kubanga mu kisenge kiba tekyetaagisa.

Agattako nti; Omukyala yenna yandibadde n’ekifaananyi ekiggyayo obulungi bwe kye yatimba mu kisenge kye, nga munne buli lw’akiyingira kw’atuukiza amaaso, era buli lw’akitunulako tayinza kusigala kyekimu. Wabula abafumbo batono kino abakikola.

Ekirala, ekisenge kyo tekirina kubulamu bwakulya obutonotono nga sswiiti, cukuleeti, kuuki, bisikwiti n’obwokunywa obutonotono. Ky’olina okumanya nti oluusi abasajja eyo ebbali gye balaga abakazi abo bamanyi obubabudaabuda nga babawa ebyokulya era abasinga bye bibasibayo.

Sevviiri agattako nti okwaniriza munno mu kisenge nayo nsonga nkulu. Abakazi bangi kino baakisuula dda. Buli lw’oyaniriza munno obusimu bwe bulinnya n’ayongera n’omutindo gw’omukwano gwe gyoli.

Omukyala omufumbo mu kisenge olina okuba n’amaaso agalimu omukwano, togamaggula, bumagguzi wabula yiga okutunuza omukwano ng’amaaso makkakkamu kubanga gatuusa mangu obubaka eri munno.

Ssalongo Gamulengejja Matovu ow’omu Kampala agamba nti n’abasajja tebalina kuba na nsonyi nga bali mu bufumbo. Okugeza, teyandirekeredde mukazi mu kisenge mu nsonga z’omukwano. Bw’osalawo mwesanyuse kakasa nga munno atuuse ku ntikko aleme kuwankawanka.

Ekirala, weete munno akulabe bw’oswakidde, kijja kumwongera obwagazi. Naye abamu obuwale babwambulami nga bayingidde obuliri, olwo munne n’asigalira kuteebereza nga bwe wakula. Munno era muteeketeeke mu ngeri entuufu ng’okozesa obukodyo obunaamwongera obuswandi.

Bw’onookikola obulungi, munno tayinza kusigalamu kakunkuna era naye ajja kukusanyusa. Abakyala n’abaami kasita mwekomomma mu kisenge ne mutwalayo ensonyi bamalaaya bajja kubatwalako obufumbo era amaka gaba gabalemyen okutambuza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...