TOP

Mukazi wange tayagala kwegatta

Added 13th March 2017

Mukyala wange amala ebbanga ddene nga buli bwe mmugamba ku nsonga z’omu kisenge agamba nti kampummulemu onzuukusa ekiro, ate bwe mmuzuukusa takkiriza. Ssenga nkole ntya kubanga nze mba nnina obwagazi?

Mukyalawo akola mulimu ki? Akomawo ng’akooye nnyo? Oba omulimu gwe gumukooya ennyo lwaki tafunayo akadde nga kako?

Ekirala mwana wange ky’olina okumanya abakyala tebalinga basajja. Abakyala batono abasobola okuva mu tulo ne beegatta era ne banyumirwa.

Obwagazi ng’ovudde mu tulo buva wala naddala ku ludda lw’omukyala.

Ate mu basajja bw’owummula obwagazi bubeera bungi. Ekirala oba mulina ebizibu mu bufumbo nga n’omukwano munno talina gy’oli.

Oba olina kye wakola ng’akyalina obusungu, oba alina ebimutawaanya obwongo nga bye bimubuza obwagazi?

Abakyala bangi tebasobola kugaana kwegatta ate ebyaffe byangu. Abakyala bangi tebafuna bwagazi naye beegatta, ate oluusi bafuna obusongasonga obubagaana okwegatta.

Kati olina okwetegereza lwaki omukazi aba akuwa obusongasonga obwo.

Era kiki ekigenda mu maaso. Nsaba okube ttooci mu bufumbo bwammwe olabe oba waliwo ebitatambula bulungi, obitereeze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Joel Kakembo akunz...

Omusumba Joel Kakembo owa Mt. Zion Church Gayaza era akulira Upper Room Pastors Network, akubirizza abasumba okwetaba...

Abatuuze mu lukiiko.

Nnamukadde yeekubidde enduu...

Nnamukadde Teddy Nakirijja 75, nnamwandu w'omugenzi Disan Mukasa yeekubidde enduulu mu ofiisi y'omukulembeze w'eggwanga...

Omubaka Kabanda ng'ayogera eri abaddusi.

'Muwagire nnyo enteekateeka...

OMUBAKA omukyala owa Masaka mu Paalamenti, Mary Babirye Kabanda emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka agisimbudde n'abaddusi...

Amuriat (owookusatu ku ddyo) ne banne nga batudde mu luguudo wakati.

Wano nvaawo na guleeda - Am...

Wabaddewo akanyoolagano wakati w'akwatidde FDC  bendera okuvuganya ku bwapulezidenti, Patrick Oboi Amuriat ne Poliisi....

Ssaabasumba ng'akwasa Omukristu Bayibuli. (Ebif. Ponsiano Nsimbi)

Abavubuka mukomye okukola e...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga alabudde abavubuka  okukomya okukola effujjo....