
Patrick ne Ritah Bongole baakamala omwaka gumu mu bufumbo obutukuvu mwe bazaalidde omwana.
RITAH ne Patrick Bongole bagamba nti abantu bangi abanyooma obufumbo olw’okusoomoozebwa obukulimu.
Obwabwe babunyumya bwe bati; “Obufumbo bwaffe twabutandika na kwesiga Katonda era n’okuluηηamizibwa ekkanisa kwe yatuyigiriza.
Kati omwaka mulamba era twongera okuyiga ebirungi Katonda bye yateeka mu bufumbo.
Abaefeso 5:22-23 eruηηamya nti “..abakazi, muwulirenga ba bbammwe, nga bwe muwulira Mukama waffe. Kubanga omusajja gwe mutwe gwa mukazi we.”
Era olunyiriri lwa 25 nti “Abasajja mwagalenga bakazi bammwe era nga Kristo bwe yayagala ekkanisa, ne yeewaayo ku lwayo..”
Ennono ezo ze zikuumye obufumbo bwaffe mu mukwano n’okuwuliziganya.
Tukubiriza abavubuka abateeseteese okufumbiriganwa mu bufumbo obutukuvu era bakuumagane nga babeera wamu.
Ensangi zino abavubuka bangi abatya endagaano y’obufumbo ate n’abamu bagiyingiddemu nga tebategese mitima gyabwe.
Waliwo abaawuddwa olw’emirimu gy’ebyeyo wabweru w’eggwanga.
Kino tekikuuma mukwano kubanga abaagalana basaanye babeerenga wamu buli omu ayige munne.
Basaanye okukolera awamu okwekulaakulanya nga bazimbira ku musingi omunyweevu ogw’amazima.
Obulimba mu mukwano tebusobola kuwangaaza bufumbo wabula okubusattulula.
Abafumbo era basaanye okufunayo bafumbo bannaabwe be beebuuzaako era nga basobola n’okubatabaganya ssinga wabaawo obuzibu bwonna.
Kino kitukoledde nnyo kubanga nga twakafumbiriganwa twafunayo emigogo gy’abafumbo ebiri bwe tukuηηaana buli mwezi, ne tugabana okusoomoozebwa era ne twewa amagezi wamu n’okuwagira enkulaakulana zaffe fenna.
Eno ffe etukolera nga kkooti ey’oku ntikko era buli omu waddembe okuloopa ensonga gye sigonjodde eri bannange.”