
Talina kyeyaba mwana wange. Abasajja batono ddala abamanyidde embeera eno.
Anti era abakyala batono abalina obuvumu okukwata ku busajja oba okunoonya omusajja mu busajja. Kale ndowooza nti yatya kubanga kyali kipya gyali naye sirowooza nti alina obuzibu bwonna.
N’ekirala oba kino kyabeerawo tokyogerako era bwe muddamu okwegatta tokwata ku busajja bwe.
N’ekirala waliyo abasajja nga kye bamanyi be balina okutambuza omukolo bokka.
Kale bw’afuna alina ky’amanyi ku mukolo amaanyi gayinza okumuggwaamu naddala bw’alowooza nti ono alabika amusinga okumanya ebintu. Ono mugende mpola.