
Akwi
SARAH Akwi yafunako ku muggya we naye teyasiba migugu. Annyonnyola bwati bwe yamalako n’embeera eyo;
“Nnali naakamala emyaka 3 mu bufumbo, ne nzuula nti baze alinayo omukazi omulala. Yatandika okukomawo awaka ng’obudde buyise, olumu ng’azira n’emmere.
Yatandika okuyomba buli kiseera nga n’akantu akatono kamuyombya.
Kino kye kyampaliriza okunoonyereza mmanye oba alinayo omukazi omulala.
Lumu yalekawo essimu ye ne ngikebera ne nsangamu obubaka bw’omukwano ng’omukazi abumusindikidde.
Nawulira nga mpeddemu amaanyi wabula ne ηηuma kubanga nali naakazaala omwana wange owookubiri nga sisobola kumulekawo.
Bwe yakomawo ne mmubuuza ku by’omukazi n’asooka okumwegaana. Bwe nalemerako n’ambuulira ekituufu era n’ansaba mmusonyiwe.
Wadde yeenenya nnamanya nti omusajja bw’atandika obwenzi tosobola kumukyusa.
Nabuuzaako mikwano gyange abaludde mu bufumbo bampe ku magezi ne baηηamba nsooke mmubuuze by’ayagala mmukolere bye sikola. Nayogerako ne maama naηηamba ηηume.
Kuno nagattako okumusabira okutuusa Mukama bwe yamuzza kati wange bwomu. Bwe twatuula n’omwami wange yaηηamba nti yali akooye okumuyombesa n’obutamulaga mukwano.
Bwe nnamanya ensobi yange ne nkyusaamu.
Nakanya mpisa ne mufukaamirira kuba nnali nkimanyi nti akyagala ate nga mmanyi nti muggya wange takikola.
Nayongera amaanyi mu kufumba kwange era omwami wange nga ne bw’agenda awalala akomawo n’alya emmere gye nfumbye kubanga y’emusingira.