TOP

Obubonero bw'omusajja anaakugattako

Added 4th April 2017

Obubonero bw’omusajja anaakugattako

 Bano abaagalana baabadde Lukaya nga bali mu mukwano omuzito.

Bano abaagalana baabadde Lukaya nga bali mu mukwano omuzito.

BULI mukyala njagala akimanye nti ekitonde ekisajja kisikirizibwa nnyo. Naye omusajja alina obwongo okusalawo.

Abasajja abamu baleka ebirowoozo ne bifuga ebikolwa wabula ne batakozesa magezi mazaale kusalawo oba ddala kigasa okufuna omukyala omulala. Era n’abakyala bwe tuli. Oyinza okufuna abasajja bangi abakwagala, naye olina okukozesa obwongo okusalawo.

Mu mbeera eyo buli musajja asobola okufuna omukyala omulala, naye ate waliyo abasajja nga kyangu okukugattako muggyawo.

1 Omusajja atassa kitiibwa mu kitonde kikazi aba mwangu okubagattako. Kino okirabira ku njogera, ebikolwa n’enneeyisa.

2 Omusajja omujoozi ng’asobola n’okukwana omukazi nga mukazi we alaba, akwana mikwano gyo, baganda bo oba abantu b’omanyi. Oyo omanya nti kyangu okukugattako.

3 Omusajja ava mu maka nga kitaawe, baganda be, bakojja ne mikwano gye nga balina abakazi bangi naye kiba kyangu okukugattako kubanga abeera alaba nga kya bulijjo.

4 Oluusi eddiini oba eggwanga lisobola okukkiriza omusajja okufuna abakyala abasukka mw’omu.

5 Omusajja agendera ku bye bamugamba nga teyeesalirawo naye aba mwangu okukugattako.

Abo be bawoza nga gundi bwe yamugambye nti kirungi okuba n’abakazi abawerako, nti oba gundi yafuna omukazi alina ssente kati bali bulungi kubanga omukyala muto ayamba ku mukyala mukulu.

Manya nti ajja kufuna omulala kubanga ayagala kugezaako afune gundi kye yafuna. 6 Waliyo abasajja nga banoonya basika oba ekikula ky’omwana gw’atalina.

Bw’aba n’abalenzi bokka ayinza okuba ng’anoonya bawala, oba bw’aba n’abawala ng’anoonya balenzi. Ate n’akyogerako nnyo nti ayagala ekikula ky’omwana gw’atalina, n’atamanya nti amagi ge ge gasalawo ku kikula ky’omwana azaalibwa.

Omusajja ow’ekika kino kyangu okufuna omukazi omulala.

7 Ennaku zino abasajja abatayagala kukola baagala abakyala aba- lina ssente. Era bw’olaba omusajja ng’akuliriza ssente ez’obwereere ng’omanya nti asobola okuzifuna ku bakyala, era ajja kubanoonya.

KW’OLABIRA OMUSAJJA ALINA OMUKAZI OMULALA;

Abasajja abamu bafuna abakazi abalala wabula ne bamanya nti nsobi. Kale balina kukikuuma nga kyama era bakola ekisoboka okukuuma ekyama kino. Naye era waliyo obubonero bw’omanyirako. Atandika okukomawo ng’obudde bugenze ate oluusi n’okusulayo. Obulimba butandika ate ng’olabira ddala akulimba.

Ayinza okugamba nti, leero tukoze nnyo, wankubidde essimu nga tuli mu miitingi, sigenda kudda mangu ηηenda kulaba gundi. Atandika okufuna eηηendo buli kiseera.

Okwegatta kukyuka anti akomawo talina nnyonta. Akugamba nti akooye oba alina ekimuluma. Yeebaka mangu omusanga yaguddewo nga tolina gamutandika ate akeera mangu nga gwe bagoba mu buliri.

Ate olw’okuba ayagala okuzibira gy’ava ayinza okuleetawo omukwano gw’otolabangako ng’ayagala kukuziba maaso oleme kulowooza oba kusuubira nti waliyo omulala.

Atandika okweyombya oba okufuna kw’atandikira olutalo naawe. N’ekintu ekitono kimuyombya anti kati awaka aba tayagalawo kuba buli kimu kimunyiiza ate eri gy’ava wamusanyusa.

Obuvunaayizibwa atandika okubusuula. Tayagala kusasula nnyumba, kugula mmere, wadde okujjanjaba abaana be.

Teri kyokola ne kimusanyusa. Emmere bw’erwawo olwo taalye. ate bw’ewola olwo lutalo. Abeera n’entondo anti ayagala omweguye nnyo. Jjukira alina kyakweka.

Tafaayo ku nsonga z’ewammwe. Bw’ofi irwa oziika wekka, tagenda ku lumbe wadde embaga otambula bw’omu.

Bw’ayogera ku ssimu akuviira oleme kuwulira. Tayagala okwate ku ssimu ye era agikuuma nnyo. Ate bwomukubira essimu takwata, awoza ‘neetiwaaka’ oba essimu tebeerako.

Atandika okwekolera emirimu egimu ng’okweyoleza obuwale obwomunda, okugolola ate oluusi akugamba engoye azitwala wa dobbi naye nga waliyo ayoza. Omulundi oguddako tugenda kwogera ku basajja basalawo batya okufuna abakyala abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssentebe Sserunjogi ng'alaga olukalala oluliko abantu be yagobye.

Ssentebe agobye abakulembez...

Ssentebe w'e Bujuuko agobye abakulembeze ku lukiiko lwe lwa kumutyoboola mu bantu. Francis Sserunjogi ow'e Bujuuko-...

Omugagga Dodoviko Mwanje ( ku kkono ) ng'ali ku kkooti e Kololo ne SSP Rashid Agero.

Okuwulira omusango oguvaanw...

WADDE nga gavumenti yamaliriza okunoonyereza ku musango oguvunaanibwa omugagga Dodovico Mwanje amanyiddwa nga Dodo...

Kityo eyakuliddemu enteekateeka y'ekyoto ng'ayogera.

''Ababuvuka mugondore amate...

OMWAMI wa Kabaka atwala eggombolola y'e Nsangi, Wasswa Mathias Kutanwa asabye abavubuka okuba abasaale mu kulwanyisa...

Abamu ku baana abaafudde.

Poliisi eyingidde mu by'aba...

POLIISI mu disitulikiti y'e Rakai eyingidde mu kunoonyereza ku kituufu ekyaviiriddeko abaana aba famire emu, abataano...

Brenda Nairuba ng’apooca mu ddwaaliro ly’e Kamuli-Mulago.

Bba amutemye lwa kumumma ma...

Maama wa bbebi ow'emyezi ebiri apooca. Ali ku kitanda mu ddwaaliro ly'e Kamuli-Mulago ekkulu oluvannyuma lwa bba...