TOP

Omukazi anfuukidde ekizibu

Added 24th April 2017

NDI ku bunkenke kuba obulamu bwange buli mu katyabaga olw’omukazi gwe nakwana okunfuukira ezzike.

NDI ku bunkenke kuba obulamu bwange buli mu katyabaga olw’omukazi gwe nakwana okunfuukira ezzike.

Yansibisa mu kkomera ne nfunirayo ebizibu ebyantwaza mu ddwaaliro era wadde twayawukana ayagala kutwala nnyumba yange n’emmotoka.

Nze Sadiki Zziwa, 49, nga mbeera Lugala - Masanafu okumpi n’e Kampala. Okukwana mwana muwala ono, namusanga n’abaana be era ne nzikiriza okubeera nabo kuba nange nalinayo abange babiri. Guno gwali mwaka 2015.

Nga wayise ebbanga, twafuna obutakkaanya era nga simuzaddemu mwana kuba olubuto lwange lwali lwa myezi musanvu n’aluggyamu.

Okumukwana, yali yaakava ew’omusajja omulala kyokka waliwo n’omulala amulondoola gwe nnali simanyi nga namutegeera oluvannyuma ne mukubira essimu n’antiisatiisa n’okunnangira okumubbira omukazi.

Ewange yabeerangayo ennaku mbale ng’endala agamba nti agenze waabwe naye ng’alabika abeera wa basajja. Nagezaako okumugoba n’agezaako okwetta era ensonga nazitegeeza taata we ne ssenga we.

Wabula olumu mba ηηenze mu kyalo nasanga asibye ebintu byange ng’agenze. Naloopa omusango ku poliisi e Lugala ku fayiro nnamba SD: 08/01/2/2016 ogw’okunziba.

Omukazi twamunoonya ne tumuggya e Lugala kyokka ate poliisi mu kifo ky’okumusiba baakwatamu nze ne banzigulako omusango gw’okutulugunya omukazi.

Bantwala ku poliisi ya Old Kampala era mba ndi mu kaduukulu abasibe ne bankolako effujjo kyokka ne babuzaabuza obujulizi.

Bino byaliwo mu Febuary, 2016. Tebampa mukisa kwewozaako okuggyako okutwalibwa mu kkooti ku Mwanga 11 ne mperennemba n’omusango okutuusa omulamuzi Allan Nyakaana bwe yagugoba nga 7/11/2016.

Omulamuzi eyasooka mu musango erinnya lye sikyajjukira (atali Nyakaana) bwe namunnyonnyola embeera gye nalimu nanzikiriza okweyimirirwa ne jjanjabise.

Nagenda e Mulago gye banzijanjabira era omukazi yereetanga okunongoosa eno nga bw’ansaba musonyiwe okutuusa bwe bansiibula.

Oluvannyuma nagenda mu kitongole kya poliisi ekikwasisa empisa okunnyamba okuyigga abaserikale bensuubira nti bali mu lukwe lw’okundabya ennaku era ng’omusango guli ku fayiro PSU/ KMP/GEF/236/2016 era nkyagenda mu maaso n’okuyigga abantulugunya.

Ebyo bibadde bikyali bityo mukazi wange bwe twafuna obutakkaanya wadde awaka yavaayo, akyanemmedeko nti ayagala nnyumba yange n’emmotoka nti kuba nabigula ku lulwe. Kati agenda agamba nti namuyiira asidi.

Bannange simanyi kyakukola era njagala asobola okunyamba ampe ku magezi kuba obulamu bwange buli mu matigga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

Aba NUP si bamativu ku miso...

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku misolo emipya egiteekebwateekebwa gavumenti...

Zaake ng'ayogera e Kamwokya.

Omubaka Francis Zaake awera

Omubaka Francis Zaake akiikirira munisipaali y'e Mityana era nga ye mukulembeze w'abavubuka mu NUP, alojjedde Bannakibiina...

Kayongo ng'annyonnyola.

Nkyali mukulembeze w'akatal...

Abadde ssentebe w'akatale ka St.Balikuddembe, Godfrey Kayongo ategeezeza nti akyali mukulembeze w'abasuubuzi b'ekibiina...

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Bakoze ekyuma ekifuyiira n'...

Abakugu mu bya tekinologiya okuva mu ggwanga lya Romania nga bali wamu n'ab'ekitongole kya Good Care baliko ekyuma...