TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Okutuuka amangu ku ntikko kiraga buwoomi

Okutuuka amangu ku ntikko kiraga buwoomi

Added 25th April 2017

Okutuuka amangu ku ntikko kiraga buwoomi

 Abaagalana nga beeraga amapenzi mu kinaabiro

Abaagalana nga beeraga amapenzi mu kinaabiro

Bya Andrew Kirabira

...............................................................................................

ABASAJJA abamala amangu kiva ku kuba nti obwongo bwabwe bwonna baba babutadde ku kaboozi. Era kino si kibi. Kubanga kiba kiraga nti bawoomerwa nnyo oba babadde  eesunga akaboozi. Ky'ova olaba nga kitera kuba ku safaali esooka. Oba ku baagalana nga baakeeraba, ng'omukwano gukyali mungi.

Ate n'ekirala basajja kye bava bamala amangu,ebiseera ebisinga baba baayagadde dda okwegatta; ng'obwagazi baabufunye dda. Naye ng'abakyala baabwe bakyabalwisa mu ngeri y'okwegaanya nga nabo bakyalinda bakwate omuliro gw'obwagazi.

Oba oluusi nga tebannayingira kitanda. Kale omusajja agenda okugwa mu kisaawe nga bambi yayidde dda. Era ekivaamu  kwe kubeera ng'enkoko.

Wabula ssinga omukazi y'aba atandise omusajja (okumunoonya nga bali mu buliri), ojja kusanga nti ate omusajja tajja kumala mangu. Kubanga naye obwongo bwe bujja kugenda nga bujjula mpola obwagazi bw'akaboozi.

Wabula kino tekisaana kutiisa basajja abamala amangu kubanga si kibi okuba nti akaboozi mukanyumya nga mukataddeko ebirowoozo byonna. Kiraga nti kye mulya muba mukyagala era ng'omwoyo gubali wamu ng'alya ne muganzi we ekyeggulo.

Kubanga ate n'omusajja abeera mu kaboozi ng'ebirowoozo biri gindi naye 'abowa' abakazi. Era tamala na mangu. Munne n'atanyumirwa namu yadde  kubanga alowooza bizinensi! Kabuleng'ane...!

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...