
Mwana wange oba oli muvubuka ate nga munno omwagala bulungi embeera gy’olimu si mbi.
Naye oba olina by’onywa oluusi ebireeta embeera eno. Obwagazi obungi ng’oli muvubuka bwa butonde era buleeta embeera eno, naye bw’ogenda okula embeera eno egenda kukyuka, ng’oluusi n’okwegatta emirundi ebiri mu wiiki tosobola.
N’ekirala bw’okula n’ebitawaanya obwongo era n’obulamu tebikukkiriza kubeera na bwagazi bungi.
Nsuubira ne mukyala wo akyali muto nga naye obwagazi alina bungi, kale okuddamu okwegatta si mutawaana.
Naye mwana wange newankubadde olina obwagazi obungi bwe butyo era olina okubufuga anti obwongo bwe bufuga obwagazi.
Bw’oteeka ebirowoozo mu bwongo ng’oyagala kwegatta buli kiseera era ekyo ky’ofuna. Kubanga ne munno ayinza okukoowa ssinga teweefuga.