TOP

Andese mu nju nga ndi lubuto

Added 28th April 2017

Nze Shamirah Nalubowa, 19. Mbeera mu Kazo Angola mu muluka gwa Kawempe.

Tumaze n’omwami wange emyaka esatu mu bufumbo nga twagalana ne Yubu, akola ogw’obuzimbi.

Okumufuna yali atera okujja e Bwaise ku saluuni ya ssenga wange we nnali nva nga hhenda okusoma ku ttendekero lya Set Her Free gye nakugukira mu by’enviiri.

Olwamaliriza emisomo gyange, Yubu yansaba obufumbo, era mu 2015 ne tutandika okubeera ffembi.

Ebimu ku byansikiriza okumufumbirwa gwe mukwano gwe yandaga ng’ankwana ssaako n’okufaayo ng’ampa buli kimu. Kye saamanya nti bino byali bya kubaawo kaseera katono.

Nasooka kumugamba ajje ewaffe mwanjuleyo n’akkiriza wabula oluvannyuma ne yeekyusa awataali nsonga.

Mu July, omwaka oguwedde yanzirukako n’andeka mu nnyumba oluvannyuma lw’okumugamba nti ndi lubuto.

Landiroodi yatuuka n’okungoba mu nnyumba nga nnemeleddwa okusasula ssente.

Bannange omuntu bw’aba yaakakufuna akusuubizza ensi n’eggulu, wabula Yubu bwe namugamba nti ndi lubuto buli kimu ne kikyuka nga yeekwasa nti kirabika olubuto si lulwe, kwe kundekawo.

Kati simanyi kiddako kuba olubuto luwezezza emyezi mwenda naye sirina we mbeera kyokka tewali muntu asoboola kumpa mulimu ku mbeera gye ndimu kati.

Nalubowa yasangiddwa ku poliisi e Kawempe ng’alaajana bamuyambe waakiri bamufunire ssente addeyo ewaabwe e Buwambo kuba talina wabeera wano mu kibuga.

Yubu yamugguddeko omusango ku fayiro nnamba SD:REF:28/06/02/2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...