
Okwagalana twesanga Kiyunga emyaka esatu emabega nga kati tulina n’omwana ow’obuwala.
Omwami wange anjagala era nange mmwagala okuzaama era nga tuteekateeka kweyanjula tukole n’embaga nga Mukama atuteereddemu obwangu.
EBIKUUMYE OBUFUMBO BWAFFE OKUWANGAALA
1 Eddiini; Tuli Bakatuliki era buli kiseera nsabira omwami wange. Kino kye kisinze okukuuma obufumbo bwange.
2 Obwesigwa; Omwami wange mwesiga ate naye aneesiga olaba ne bw’aleka awo essimu ye siyinza kugikebera kuba sirina kye nnekengera.
3 Mmanyi kabiite wange by’ayagala era nfuba okulaba nga mbimukolera.
4 Sisobola kumubogolera era ndi mukyala mukkakkamu. Muwa ekitiibwa awaka ne mu bantu.
5 Abaana be be namusanga nabo mbatwala nga bange era mbalaga omukwano.
6 Bamulamu bange sibalinaako buzibu era nkolagana nabo. Nga bwe kiri nti mu buli bufumbo mubeeramu obuwonvu, nange ng’omuntu nabusangamu.
7 Buli lwe nakyazanga mikwano gyange nga basajja ate nga tabamanyi ng’ayiiga okutuusa ng’ategedde ekituufu nti si baganzi bange olwo ng’akkakkana.
8 Omwami wange nga twakaagalana ng’essimu ezinkubirwa zimucankalanya naye kati amanyi abankubira ate nange ndi mwegendereza.
9 Tayagala ηηambo n’okuwuliriza ebing’ambibwa.
10 Wadde olumu ssente zibula naye simukyawa kuba mmwagala era ηηuma okutuusa lwe tuzifuna. Buli olukya tuli basanyufu kuba tuli mu laavu yaffe.
Omwami wange mwebaza kuba abaddewo ku lwange era ankoledde ebintu bingi.
Yankolera bizinensi ya saluuni, andabirira ate ayagala abantu bange. Nkubiriza abafumbo okwagalana n’okukuumagana.
Okwesigangana, okwemenya ate ssente tezibamalangamu.