TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja yancanga ne mukwano gwange n'atusuubiza n'embaga

Omusajja yancanga ne mukwano gwange n'atusuubiza n'embaga

Added 5th May 2017

NZE Jenifer Nakandi, 21, mbeera Kasanje. Nnina wooteeri yange e Kasanje gyenkolamu.

 Omusajja yancanga ne mukwano gwange n’atusuubiza n’embaga

Omusajja yancanga ne mukwano gwange n’atusuubiza n’embaga

Mu 2016, waliwo omuvubuka eyankwana era nange ne nsikirizibwa olw’endabika ye n’ebigambo ebirungi bye yali alina.

Yandaga nti anjagala n’ansuubiza n’okunkuba embaga omwaka guno ekintu ekyansanyusa.

Yantegeeza nga bw’atalina mukyala yenna gw’ayagala okuggyako nze nti ne ku Kasanje takwanangamu mukazi yenna ekintu ekyayongera okuηηumya ne nsalawo okumuwa omutima gwange.

Ebintu bibande bitambula bulungi era nga nange akasente akatono ke nfuna nga nsonda tugende okutuuka okukola embaga nga munnange ono nnina bwe muyamba.

Era nga ne bw’abaddenga n’ekizibu abaddenga ajja n’ansaba ku ssente nange ne nzimuwa olw’omukwano.

Yatandika okujja ewange nga n’oluusi tubeera ffenna anti nga ne baganda bange abamu bamumanyi nga naye ewaabwe bammanyi.

Buli eyankwananga nga mugamba nti nnina owange naye nga simanyi nti ndi na musege.

Lumu mukwano gwange nfi ira bulago, yajja okundabako era ng’akimanyi nti nnina omusajja agenda okunkuba embaga wabula naye agenda okundaga ku muganzi we eyamusuubiza embaga ate nga ye musajja nange gwe njagala.

Bannange katono mpunge bwe nnalabye ekifaananyi kya baze ku ssimu ya mukwano gwange ate nga naye amuyita bba.

Kyannumye kuba nnali namwesiga nga buli kimu nkibalira ku ye.

Mukwano gwange yalaba nkaaba kwe kumbuuza ekinkaabye ne nkamutema ng’omusajja gw’ayita owuwe era ye musajja eyansuubiza embaga ate naye n’akaaba lulwe.

Okuva lwe nategedde nti kiri bwekityo ne nsaba muwala munnange tubituulemu tusobole okulaba ekyokukola kyokka bwe twakubidde omusajja essimu ne tumubuuza yagaanye okujja awaka naye natugamba ku ssimu nti tumusonyiwe naye ffena atwagala.

Mukwano gwange agamba nti ye omusajja yamusiima kyokka nange omusajja mbadde mmwagala naye tukole tutya kuba omutima gunnuma ate nga namulaga ne ku bantu bange.

Nsaba abasomi ba Bukedde mumpe ku magezi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Abawagizi ba Rukutana nga bajaganya

Engeri ebya Rukutana gye bi...

EBY’OBULULU bw’e Rushenyi bikyuse minisita Mwesigwa Rukutana bw’alangiddwa ng’eyawangudde akalulu k’essaza lino...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....