TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ag'emugga lwe galemesa abaagalana okunyumirwa omukwano

Ag'emugga lwe galemesa abaagalana okunyumirwa omukwano

Added 10th May 2017

“BULAADI nkubuulire..., ddeemu gwe nafunye atuuse okunnema lwa g’emugga. Nnali ngaagala naye gano gansusseeko ne byenkola mba sibitegeera...”

 Bano baasangiddwa nga banyumirwa obulamu mu mazzi ku bbiici emu ku lw’e Ntebe gye buvuddeko.

Bano baasangiddwa nga banyumirwa obulamu mu mazzi ku bbiici emu ku lw’e Ntebe gye buvuddeko.

Ebyo bye bimu ku bigambo bye nnawulidde mu mboozi y’abavubuka abaabadde banvaako emabega mu bitundu by’e Kireka.

Kino kyanzijukizizza enjogera y’Abaganda egamba nti, ‘Ebiririra n’etewunya,’ wabula ng’omuvubuka ono alabika ate eby’okubiririra bimumalako emirembe.

Ekizibu nti abawala n’abakazi batono abayinza okukkiriza nti ssinga ag’emugga gayitirira gatamya abasajja omuzannyo gw’abakulu.

Eno y’ensonga lwaki abawala n’abakazi ensangi zino basiiba banywa ebiwooma n’ebikaawa ssaako okwesonseka mu bukyala eddagala ezzungu n’ery’ekinnansi nga banoonya okufuna ttaapu ezifukumula amazzi olwo abasajja baabwe basobole okubatenda nga bwe baaweza ‘kiyira’!

Edith Mukisa, omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo agamba nti oluusi omukazi bw’ayitiriza ag’emugga ayinza okulemesa munne omukwano anti nga talina w’atandikira. Ate bw’asangibwa nga mucaafu kiyitirira.

Agattako nti abakyala ba njawulo. Abamu balina ag’emugga mangi abalala matono naye nga buli omu alina obusobozi okugafuna nga kiva mu bwagazi bw’afunye n’engeri omusajja gy’amukuttemu.

Agamba nti omusajja bw’ayagala okwegatta afunirawo obwagazi naye ku bakazi okuta amazzi ne gatuuka mu bukyala, obwongo bwe buteekwa okuba nga buteredde bulungi mu layini y’okwegatta.

“Akakukufa okusibuka abalongo y’entabiro y’obwagazi bw’omukazi, era ssinga omusajja akaweeweeta bulungi mu ngeri entuufu, kizibu omukazi obutafuna mazzi, kubanga abeera afunye obwagazi.”

ENGERI AMAZZI AMANGI GYE GALEMESA OKUNYUMIRWA:

Mukisa agamba nti amazzi agava mu kakukufa si ge gamu n’agava mu bisenge by’obukyala.

Amazzi agava mu kakukufa gajja n’amaanyi mangi era galina engeri gye ‘galeekaanamu’ oluusi ekiyisa obubi abasajja abamu naddala abatagaagala, ne gabatta muudu.

Ayongerako nti amazzi ag’ekika kino bwe gasanga omukazi atamanyi bya kwetegeka ng’alina enkumbi eziwera era nga zimuli kumpi awo, muyinza okwetamwa eby’okwegatta.

Omukazi owa ttaapu eziyiwa ennyo ateekeddwa okubeera n’enkumbi ennene ddala esobola okunywa amazzi ago baleme kusigala mu kitaba nga bageebaseemu.

Kino era kiyamba n’obutayanika mufaliso buli kiseera. Mukisa era agamba nti omukazi alina amazzi amangi kizibu okukkuta akaboozi naddala ng’omusajja talina bukugu mu ngeri y’okukwatamu omukazi ow’ekika ekyo.

Kino kibaawo kubanga omusajja ayinza okulemwa okutereera munda, mu bukyala omukazi ne yeesanga nga tamuwulira, kubanga amazzi gaba mangi nga kizibu ebisenge by’obukyala okukwata omusajja okumunyweza.

OYINZA OKUKOMA KU MAZZI GANO ERA OTYA?

Mukisa agamba nti amazzi gonna agava mu bukyala tewali ngeri yonna omukazi gy’ayinza kugakomako kubanga kyabutonde, galinga maziga. Waliwo abalina amangi nga banyigako katono ne gayiika, sso ng’abalala bagaggya wala.

ALINA AMANGI YEETEGEKA ATYA?

Mulina okubeera n’enkumbi ennene eyenkana ekitundu ky’essuuka, oba ettawulo, gy’osooka okwala wansi, olwo n’olyoka ogattako enkumbi zino eza bulijjo, eziyonja.

Oba musobola okuteeka akaveera wansi ku mufaliso okwewala okugutobya.

Annyonnyola nti amazzi g’ekyama mu butonde tegavaamu lusu naye bwe gasanga omukazi omucaafu nga tafa ku musajja we naye kennyini gattira ddala muudu kuba abeera teyageetegekedde bulungi.

Agamba nti abasajja abamu tebagaagala kuba gabonoonera obuliri ate gabeeraliikiriza ne gabateeka ku bunkenke bw’abeera ayagala baddemu luutu endala. Era abasajja abatagaagala, bw’amanya nti omukazi gwali naye alina mangi, tamunoonya nnyo , gajje matonotono.

LWAKI ABAMU BALINA MATONO ATE ABALALA BALINA MANGI?

Omukugu mu kujjanjaba abakyala, Dr. J B. Spire Kiggundu okuva ku Henrob Medical Center e Zzana agamba nti abakyala bonna mu butonde balina amazzi.

Agamba nti Abaganda balina amazzi matonotono olw’engeri gye balyamu ne sitayiro z’akaboozi ze basinga okwettanira ate abava mu bugwanjuba balina mangi okusinga olw’emmere gye balya ssaako okukozesa sitayiro y’ak’e Mbarara eyongera okuzibukula ensulo amazzi ne gaba mangi.

Agamba nti amazzi agaseerera ng’eminyira gava ku mumwa gwa nnabaana wamu ne mu bisenge by’obukyala, kubanga mubaamu ensanjabavu ‘Bartholin’s glands’ awava amazzi agayamba okuseereza ekkubo.

Ayongerako nti waliwo ebintu ebyabulijjo ebitwetoolodde ebiremesa amazzi okuwera okugeza, emmere gye tulya oluusi ereeta oba okubuza ag’emugga. Agamba nti oluusi n’ekifo abaagalana we beesanyusiriza kiyinza okubuza ag’emugga, naddala ng’omukazi takiwuliriramu mirembe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...