TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Nnazaala ne mulamu bannemesezza eddya

Nnazaala ne mulamu bannemesezza eddya

Added 17th May 2017

OBUFUMBO bwe nayingiramu nga nneesiimidde nnazaala ne mulamu wange babunnemesezza. Nze Agnes Nakanwagi mbeera Ngombere.

 Nakanwagi

Nakanwagi

Twafumbiriganwa ne baze ne tukola amaka gaffe agasangibwa e Ngombere gye tubeera n’abaana baffe babiri.

Twayagalana n’omwami wange wadde embeera ye yali teyeeyagaza nga talina mulimu ng’asula na ku mukeeka.

Kale obulamu bwaffe bwali bwa kweyiiya naye olw’omukwano gwe twalina nnagumira embeera eno kuba nnali nsuubira nti ejja kutereera.

Baze yafuna omulimu naye ng’asasulwa kitono ddala nga ssente z’afuna tezitumala kubanga nnali nzadde n’omwana waffe asooka.

Nagenda ewa mwannyinaze ne munnyonnyolamu embeera yaffe era ne musaba afunireyo ku ssente ntandike okukola.

Yanfunira ssente ne ntandikawo edduka era embeera yaffe awaka n’etereera. Nasonda ssente ne tugula poloti ne tuzimba ennyumba yaffe.

Nga tumaze okuzimba, baze yantegeeza nti nnazaala wange mulwadde era ayagala kumuleeta waka bamujjanjabe ekintu kye nnakkiriza.

Yamuleeta ne ntandika okumulabirira okutuusa bwe yawona. Wabula wadde yali ateredde, yasalawo kusigala waka.

Nnazaala yatandika okunekkokkola ng’agamba baze nti sirina mpisa kubanga mulekera emirimu gy’awaka era mmuyisa ng’omukozi n’amulagira afuneyo omukyala omulala kubanga nze sisobola maka.

Baze yatandika okukyuka era okukkaanya ne kugweerawo ddala awaka ηηagamba nti bwe mba saagala maama we waka muviire ajja kufuna omukyala omulala alina empisa ate ng’awuliriza maama we. Naguma ne ngezaako okukola ebisanyusa nnyina naye nga tabirabawo.

Oluvannyuma nafuna amawulire nti nnazaala wange yali afunidde baze omukyala omulala. Kino kyannuma kuba baze twali tuvudde wala okufuna ssente ate nga mmwagala.

Nagumira embeera kuba nnali saagala kudda mu bazadde bange. Naye lumu baze yakomawo matumbibudde ng’atamidde, bwe namunenyaako n’atandika okunkuba era ne mwesonyiwa. Lumu yankuba ne nfuna obuvune ne bantwala mu ddwaaliro.

Bwe nava ku kitanda, nagendako ewa maama nsobole okukkakkanya ku birowoozo. Eno nnamalayo ennaku nnya ne nkomawo mu maka gange.

Nagenda okudda nga mulamu wange awambye edduuka lyange. Nasooka kulowooza nti engeri gye sibaddeewo, alabika annyambako okutunda wabula bwe nagenda okubalirira ebitabo, mulamu wange n’antegeeza nga bwe sikyalina buyinza mu dduuka eryo kuba yayongeddemu ssente ze.

Nalinda baze n’akomawo ne muyitiramu. Bwe nabimugamba, teyanziramu olwo nnazaala wange ky’ava agamba nti oyo bw’aba asirise nze kankunnyonnyole.

Yantegeeza nti edduuka terikyali lyange era mbaviire naye abaana baabwe mbaleke. Yagamba nti bw’aba waakunyamba agenda kumpa emitwalo ena ekintu nkiveemu.

Nnasiriikirira mu nnaku nga ndaba baze andiddemu olukwe. Nagenda mu kakiiko k’ekyalo bannyambe kyokka ne bannemesa. Kati simanyi kya kukola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...