TOP

Yansiba olubuto ne bankwata

Added 22nd May 2017

NZE Umar Waiswa, mbeera Makindye naye nga nzaalibwa Iganga. Eno gye nnasomera okutuuka mu S6. Waliwo omuwala eyali mu S2 n’anneegwanyiza.

Yandeeteranga ebyokulya kumpi buli lunaku okuva ewaabwe naye nga simanyi nti yali antega bumasu era okukkakkana nga twagalanye.

Twatambuza bulungi omukwano gwaffe wadde nga ku ssomero abasomesa baalinga tebakimanyi.

Wabula lumu tuba tuva ku ssomero ne tubaako we tuwummulira tunyumyemu ng’abaagalana, era eno omusomesa w’omuwala gye yatusanga, omuwala okuddayo ku ssomero zaali kibooko.

Oluvannyuma omuwala baamugamba aleete bazadde be bagonjoole ensonga zino.

Omuwala kino teyakitya kuba ab’awaka baali bakimanyi nti tweyagala kyokka omusomesa ye n’asalawo kumukuba kibooko.

Wabula oluvannyuma nakitegeera nti omusomesa ono yali aganza omuwala ono n’amugaana kye yava amuyisa bwatyo. Twasigala tugenda mu maaso ne laavu yaffe.

Nga wayise omwezi gumu, omuwala yafuna olubuto era ne nkwatibwa ne bansiba.

Mu kkomera nnamalayo emyezi esatu abazadde ne bateesa okunta nsobole okulabirira olubuto n’omwana ng’azaaliddwa.

Bwe nnavaayo, nnatandika okulabirira olubuto, wabula ekyammala enviiri ku mutwe, ye muwala okuzaala omwana nga yafaanana omusomesa n’amumalayo.

Kino kyajja taata mu mbeera okutuusa omuwala bwe yayogera ekituufu nti olubuto lwali lwa musomesa we ng’era ye yamukaka okunsibako olubuto luno.

Okuva olwo nnali nsazeewo obutaddamu kuganza muwala yenna naye nga bw’omanyi ekyobutonde, bwe mbadde ku yunivasite eno nafunayo omuntu omulala gwe neegwanyiza nga nsuubira n’okumutwala mu bazadde bange naye nga simanyi nti naye muyaaye.

Mu February w’omwaka guno, omuwala ono yantegeeza nga bwe yafunye olubuto era nange ne ntandikiriwo okumuwa obuyambi.

Ndi mweraliikirivu nti n’omuwala ono ayinza okumpisa nga eyasooka olw’endabika ye n’azaala omwana nga si wange.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Anite ku ddyo ng'atwalibwa mu mmotoka ya poliisi eyamututte e Mukono

Eyatemudde mukwano ggwe n'a...

POLIISI eyogezza omukazi eyasse mukwano gwe n’amubbako omwana e Mukono n’amutwalira muganziwe mu bizinga by’e Kalangala....

Balooya ba Kyagulanyi, George Musisi (ku kkono) ne Fredrick Robert, muganda wa Kyagulanyi, Fred Sentamu Nyanzi (wakati), omuwandiisi wa NUP, Gen. David Lewis Rubongoya, n;omwogezi wa NUP, Jowel Senyonyi (ku ddyo).

Poliisi by'esazeewo ku kuva...

POLIISI ekkirizza okuva mu maka ga Kyagulanyi wabula n'etegeeza nti yaakusigala ng'emutambulizaako amaaso. Omwogezi...

Pulezidenti Museveni lwe yatongoza ekkolero lya METUZHONG erikola bbaasi e Namanve nga March 9, 2019.

Gavumenti by'egenda okukola...

OKUTANDIKA okukolera wano ebintu ebibadde bisuubulwa ebweru w’eggwanga n’okwongera ku bungi bw’ebintu ebitundibwa...

Fred Enanga.

Poliisi eyigga omuwala eyag...

POLIISI etandise okunoonya omuwala, Unique Kobusigye gw’erumiriza okusaasaanya amawulire ku kyasse Omusumba w’e...

Isreal

Boogedde bye balabye mu mya...

Micheal Orahi Osinde, omwogezi w’omukago ogutaba ebibiina byobufuzi byonna mu ggwanga ogwassibwawo mu 2010 agamba...