
Bano baabadde ku mukolo ogumu mu Kampala nga beekubya ebifaananyi ku ssimu.
OKUSOOKERA ddala mwana wange abakyala bangi abalina ekizibu kino. Era ng’okusinga embeera eno abasajja be bagireeta. Abasajja abasinga bamanyi nti abakyala tebalina kumalamu kagoba.
Era ye ng’omusajja bw’amala, olwo okwegatta kubeera kwa ssanyu. Embeera eno okusinga eva ku ngeri abasajja gye bakuzibwamu nga bamanyi nti omukyala alina kusanyusa musajja.
Era ng’omulimu gw’omusajja kwegatta na kumalamu kagoba. Omusajja bw’abeera n’endowooza eno, tafaayo kunoonya mukyala era tamanyi oba omukyala amala oba afuna n’obwagazi. Abasajja ab’engeri eno yeegatta n’omukyala nga talina bwagazi, nga mukalu era nga n’okwegatta kwa bulumi.
Kati mwana wange ky’olina okusooka okwebuuza ogenda okwegatta ng’ofunye obwagazi? Munno akunoonya bulungi? Okunoonya kukoma ddi? N’ekirala munno akimanyi nti totuuka ku ntikko? Kubanga era gwe kennyini gwe omanya nti otuuse ku ntikko oba totuuse. Kati mwana wange olina okwogera ne munno ku nsonga eno.
Ayinza okuba nga takimanyi. N’ekirala ayinza okuba nga takimanyi nti abakyala balina okutuuka ku ntikko era ng’abasajja. Yogera naye bulungi kubanga ayinza okukitwala obubi ate ne muvaamu oluyombo mu maka gammwe.
Naye kambuuze ofuna obwagazi? Oba obufuna munno talina kulekayo kukunoonya kikuyambe okutuuka ku ntikko. Ate alina okuyiga obusimubwo webuli ηηamba obusumulula obwagazi. Noolwekyo weetegereze ensonga ezo ssinga muzikolako ojja kutandika okumalamu akagoba.