TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ku mukazi n'omusajja ani asinga okunyumirwa akaboozi k'oku makya?

Ku mukazi n'omusajja ani asinga okunyumirwa akaboozi k'oku makya?

Added 6th June 2017

Sooka omuwembejje ng’omukutte okumala akaseera era buli kimu kikwate

 ‘Zuukuka naawe..’ Abaagalana nga bawummuddeko mu kisenge. Kirungi naawe n’ofuna ku budde mu kisenge okwongera okunyweza omukwano gwammwe.

‘Zuukuka naawe..’ Abaagalana nga bawummuddeko mu kisenge. Kirungi naawe n’ofuna ku budde mu kisenge okwongera okunyweza omukwano gwammwe.

ABAKETTANIRA obuwoomi bwako babugeraageranya ku keeki ekoleddwa mu ‘cokuleeti, omubisi ogukamuddwa mu bibala oba kacaayi akateereddwaako akatangawuzi akaganda!

Kano ke kaboozi k’oku makya akanyumizibwa ng’obudde bunaatera okutangaala.

Abakanyumirwa bagamba nti bw’okanyumya olunaku lukutambulira bulungi, kakkakkanya ebirowoozo, tobaamu kuwankawanka kwonna era olunaku olumala oli musanyufu bya nsusso.

KU MUKAZI N’OMUSAJJA ANI ASINGA OKUKAFUNAMU?

Abakugu mu bya ssaayansi n’enkola y’omubiri gw’omuntu bagamba nti akaboozi kano kasinga kunyumira basajja kubanga buli musajja afuna obwagazi mu budde bw’oku makya nga yaakasisimuka.

Era omusajja ne bw’aba akaluubirizibwa mu kucamuka, mu budde bw’oku makya yeesanga ng’obusajja bucamuse, era nga teyeetaaga kufuba nnyo.

Bagamba nti essaawa we ziwerera 11:00 ez’oku makya, omusajja ne bw’aba tannazuukuka, kawagamubiri (hormomes) ziba zaatandise dda okukola era obwagazi abeera na bungi okusinga essaawa endala yonna mu lunaku.

Kino kibaawo kuba empulizo ze naddala ez’omu bwongo ezifuga obwagazi ziba zikola mu budde bw’ekiro ne zeeyongerera ddala, era w’azuukukira kiba mulaala ng’agaludde.

Wadde omukazi naye bw’awummula kawagamubiri (hormones) nazo zikola, omukazi n’afuna obwagazi naye obwagazi bw’afuna buba butono ddala bw’ogeraageranya ku bw’omusajja.

Ekirala ekiremesa abakazi okunyumirwa akaboozi k’oku makya, bwe baba baakazuukuka beeraba nga tebasaanidde oba si bayonjo ekimala okusobola okunyumya akaboozi.

Ate era engeri ebinywa eby’obukyala gye bikwatagana n’ebinywa ebifulumya omusulo, omukazi okumuzuukukira nga tannafuuyisa ayinza obutanyumirwa kuba oyinza okumutandika ate ng’ayagala kufuuyisa, olwo n’anyumya akaboozi ng’alinda kimu omale agende yeeteewuluze.

Eno y’ensonga lwaki bwe muba baakunyumya akaboozi kano, omusajja oteekeddwa okuyamba munno naye afune obwagazi mulyoke munyumirwe;

Ebimu ku by’oyinza okukola okuteeka omukazi mu muudu y’akaboozi k’oku makya;

Sooka omuwembejje ng’omukutte okumala akaseera era buli kimu kikwate

Abaagalana nga bali mu mukwano.

 

Ebigambo by’omugamba

Weewale sitayiro ezinaabaleetera buli omu okussiza munne omukka gw’omu kamwa. Mukozese ezo ezitabeetaagisa kwetunuulira, mujja kunyumirwa.

EMIGASO GY’AKABOOZI K’OKU MAKYA:

1 Kakola nga dduyiro era bwe mukanyumya obulungi kagolola ebinywa ne koogiwaza n’obwongo.

2 Engeri gye katera okubeera ak’amangu, buli omu asigala alowooza ku munne olunaku lwonna ekyongera okunyweza omukwano gwammwe.

3 Kakola nga kacaayi k’oku makya kuba kasumulula obwongo n’omusaayi ne gutambula bulungi era akamwenyumwenyu tekaggwa ku matama g’oyo eyakanyumizza.

4 Kakola ng’eddagala okutangira endwadde naddala eziyinza okukwata omubiri olw’obukoowu, kubanga kalina engeri gye kakuzza obuggya buli lw’okanyumya.

5 Akaboozi k’oku makya kakkakkanya ebirowoozo ne kakumalako situleesi yonna, n’otandika olunaku ng’oli bulungi.

6 Kakola nga vitamiini okuziyiza endwadde naddala ez’ekika kya yinfekisonizi ezandikulumye mu lunaku.

7 Ani atayagala kutandika lunaku ng’amazeemu akagoba? Jjukira kino buli lwe kibaawo omubiri gukkakkana era n’olususu ne lunyirira.

8 Olw’okuba muba temwambadde, kibanguyira okwesanyusa nga tewali asoose kutawaana ng’ayambula munne.

 

9 Akaboozi k’ekika kino kongera okukakasa munno nti okyamwagala era tomwenyinyala kubanga osobola okwegatta naye nga tasoose kunaaba.

10 Kaamukisa. Abasajja abasinga bagamba nti akaboozi k’oku makya kasumulula emikisa kubanga agenda okuva awaka ng’asanyusizza mukyala we ate nga naye musanyufu era ebigambo omukyala by’abeera amugamba olw’essanyu biba birungi era bimuwa omukisa anti kasita omukyala akuwa omukisa gw’oku makya buli ky’okwatako kitambula bulungi.

11 Omukazi abeera n’agemugga mangi engeri gy’aba awummudde ekimala mu budde bw’ekiro, ekitabaawo naddala nga mwegasse mw’akayingira obuliri kubanga omubiri gw’omukazi guba gukyali mukoowu nga kizibu okufuna agemugga agamala.

12 Kawagala obwongo kuba busumulukuka era bw’okanyumya emirimu gijja kukutambulira bulungi olunaku lwonna. Mary Nampijja abuulirira abafumbo agamba nti bw’omanya nga munno anyumirwa akaboozi k’oku makya tokamumma, kuba ajja kusigala ng’akalowoozaako, oluusi ekiyinza n’okuleeta obwenzi.

Agattako nti okunoonyereza kulaga nti abantu 90 ku 100 baagala nnyo akaboozi k’oku makya era nga kiraga nti abasinga okukakozesa bakuumye omukwano gwabwe nga tegukaddiwa.

Agamba nti nga tonnakanyumya olina okukakasa nti gw’ogenda okukakola naye akaagala era bw’aba takaagala tomukaka.

Kino osobola okukitegeera ng’omulaba engeri gy’atunulamu n’engeri gy’akukwatakwatako bw’aba mukazi ayinza okukukwata mu kifuba nga bwe yeekyusa, oba ku birevu ate omusajja asobola okukukwata ku mabeere, mu kiwato oba ebisambi n’omanya ky’ayagala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....