TOP

Abasajja bagamba sibasanyusa

Added 6th June 2017

LWAKI abangezaako bagamba nti sibasanyusa ate ng’amazzi ngalina?

LWAKI abangezaako bagamba nti sibasanyusa ate ng’amazzi ngalina?

Mwana wange okusookera ddala kizibu omusajja okwatuula nti tomusanyusizza.

N’ekirala ogambye abakugezaako kitegeeza nti olim awo wakugezaako, tolina muntu gw’oyagala.

Kubanga omukyala oba omuwala yenna si wa kugezaako, okuggyako ng’okoseza omubiri gwo okufuna ssente oba okubeerawo nga tifaayo ku muntu gwe weegatta naye.

Okusookera ddala olina okwegatta n’omuntu ng’omwagala era nga naye ayagala okwegatta naawe.

Ekirala okubeera n’amazzi g’ekyama kitegeeza nti ofunye obwagazi naye tekitegeeza nti munno afunye essanyu mu kwegatta.

Ate munno okufuna essanyu mu kwegatta olina okumanya ebimusanyusa era n’okola ebimusanyusa ate naye alina okumanya ebikusanyusa era n’akola ebikusanyusa.

Buli muntu alina obusoboozi okusanyusa omulala era okukola kino olina okwetegereza ebisanyusa munno.

Noolwekyo, oba bakugamba tosanyusa olina okwebuuza oba ddala weegatta ng’oyagala. Sooka weetegereze gwe weegata naye oba ddala akwagala.

Akwagala kizibu okufulumya ekigambo bwe kityo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....

Fred Enanga

Ettemu n'okusobya ku baana ...

EBIKOLWA by’ettemu n’okusobya ku baana bikudde ejjembe mu biseera by’okwekuuma obulwadde bwa ssenyiga era poliisi...

Police FC eyongedde okwenyweza

MU KAWEEFUBE wa Police FC ezannyira mu Star times Uganda Premier League okwetegekera sizoni ejja 2020/2021, basonjodde...