TOP

Abawala banjaaya ne ntamwa laavu

Added 3rd July 2017

Nayagala nnyo okumuzaalamu naye nga tafuna lubuto wabula yagaana okuηηamba ekizibu kye anti twamala naye emyaka esatu naye wadde akaana. Kale kiruma.

 Muzunguli

Muzunguli

NZE Robert Muzunguli, nnina emyaka 56, mbeera Kasanje. Sirina mukazi oluvannyuma lw’okuganzaako naye nga bwe bagenda era embeera eno ngimazeemu emyaka 30.

Siri musajja mutambuze kuba n’ebyokuganza nabitandika mpezezza emyaka 25 wadde nga nali mbalaba.

Omuwala gwe nasookerako yali ku muliraano ng’asula wa mukulu we e Ntungamo. Yali muwala wa mpisa, ng’anfaako wamma ne ndowooza nti kituufu ajja kunjagala.

Bwe namukwana, yanyanguyira era ne mmusembeza bwe tutyo ne tutandika okwagalana. Wabula yandabulirawo nga bazadde be bwe bali abakambwe. Nti ne kitaawe yagaana abawala okuzaalira ku lujja era n’ansaba twegeme obutafuna lubuto okutuusa nga tumaze okwanjula.

Ffembi eby’omukwano twali tetubitegeera ekiri awo era nga tukozesa bupiira. Ebiseera ebyo nali nkola gwa bulimi n’okulunda ebintu ebyampanga ssente ezisobola okutulabirira ne munnange era emyaka ebiri gye twamala naye, omwaka ogwali guddako twali tuteesezza nneeyanjule era ne nnoonya ssente kiro na misana nsobole okutwala ebintu ebitaaswaze munnange.

Mu bbanga eryo, anti ng’olumu tubeera naye, yatandika okusesema n’okuwandula buli kiseera n’okwebaakiriza ne nkirowooza nti yandiba olubuto.

Naye nga mbuusabuusa kuba twali tukozesa kondomu. Kino kyampaliriza okumubuuza n’aηηamba nti yali lubuto.

Nasalawo okusigala nga mmulabirira era ne ηηenda ne mu kibuga Kampala nsobole okutunda ku bintu byange azaale nga waliwo obuyambi.

Namalayo wiiki naye nagenda okudda ng’omuwala yagenda dda era baliraanwa be bantegeeza nga bwe waaliwo omusajja gwe yatijjanga naye era kirabika ye yali nnannyini lubuto.

Kino kyannuma ne nsalawo okwesonyiwa omuwala kuba nakkiriza nti ddala olubuto si lwange era bwe yakomawo ne mmulagira addeyo ewa nnannyini lubuto era ne nsibamu ebyanguwa ne nsengukira e Kampala nga saagala kumulaba.

Nasengukira Nateete ne ntandika okutunda amata era eno gye nafunira mwana muwala Oliva eyali atunda emmere.

Yali muwala mulungi nnyo okusinga kwoli kyoka yalwawo okunzikiriza kuba namukwanira omwaka mulamba era olwanzikiriza twatandikirawo amapenzi.

Nayagala nnyo okumuzaalamu naye nga tafuna lubuto wabula yagaana okuηηamba ekizibu kye anti twamala naye emyaka esatu naye wadde akaana. Kale kiruma.

Ekiseera kyatuuka ssente ne zikendeera mu mata era omuwala ono yalaba embeera etandise okukyuka n’aggyayo emize gye.

Yandika okudda amatumbibudde ng’agamba nti yafunayo omulimu omupya wadde yagaana okuguηηamba.

Lumu mba ndi awo kasitoma wange n’aηηamba nga bwe yamulabye nga yeetunda e Kampala. Bwe nabimubuuza yanvuma buvumi era ne twawukana.

Mu bwavu obungi, nanoonya omulimu omulala era waliwo omugagga eyansaba okuntwala ku faamu ye e Kasanje mulundire, naye okuva lwe nagendayo, buli gwe ngezangako okukwana agaana olw’embeera gye bandabangamu era mbadde nabivaako.

Wabula singa nfunayo ali mu myaka gyange ng’asobola okunjagala, nange nsobola okumulaga laavu kuba nkooye ekiwubaalo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...