TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja kwalabira nga gw'ayagala alinayo abalala

Omusajja kwalabira nga gw'ayagala alinayo abalala

Added 4th July 2017

OYINZA okwagala omuwala wamma n’olowooza nti eby’okunoonya obivuddemu osigadde kukola maka n’omuwala gw’oba ofunye naye ng’ate ye gw’oliko akwagala kungulu wabula nga ku mutima alinako balala era nga baalowoozaako.

 Abaagalana nga bali mu mukwano mu kisenge kyabwe.

Abaagalana nga bali mu mukwano mu kisenge kyabwe.

OYINZA okwagala omuwala wamma n’olowooza nti eby’okunoonya obivuddemu osigadde kukola maka n’omuwala gw’oba ofunye naye ng’ate ye gw’oliko akwagala kungulu wabula nga ku mutima alinako balala era nga baalowoozaako.

KW’OLABIRA NTI OMUWALA GW’OYAGALA ALINA ABASAJJA ABALALA:

1 Bwe mubeera mwembi aba tayagala kukwata ssimu ze bamukubira. Oluusi agiggyako oba okugiggyamu eddoboozi n’agiteeka mu “silence” ng’olwo omanya omulenzi omulala y’amukubira. Ate bw’aba agikutte, abeera awuuna nga n’ebyayogera tebivaayo bulungi. Mu bufunze aba tayagala omanye gw’ayogera naye.

2 Afuna ebirabo eby’enjawulo ng’akulimba nti baganda be be babimuwadde. So nga ekituufu kiri nti omulenzi we, omulala y’aba akimutonedde.

3 Takuwa budde bumala bw’obeera naye ng’okusulako oba okusiibako ewuwo kibeera kizibu. Omuwala alina abasajja abangi tatera kuba na budde era buli kiseera abeera apapa, bw’omugamba akuwe ku budde asuleko ewuwo tabula kye yeekwasa so ng’abeera ne pulogulaamu ze z’abeera yakoze n’abasajja be abalala.

4 Tatera kujjira mu budde gwe bw’omwagaliramu. Bw’omukubira essimu n’omugamba oba agyeko ewuwo ku lunaku oba obudde bw’obeera omwetaagiramu tatera kukituukiriza oluusi tajja oba okujja ekikeerezi ng’obudde bwe wamugambye bwayise. Kino kiraga nti oluusi abeera ne pulogulaamu ze yabadde amaliriza n’abaagalwa be abalala.

5 Alowooleza nnyo mu ssente. Omuwala atali ku gwe wekka abeera ayagala ssente era ekigambo kimu bibiri ssente ate nga takubalirira. Ono emirundi mingi aba takwagala wabula ng’akwagalako ssente. Ayinza okwefuula omulwadde nti agenda mu ddwaaliro, oba yafi iriddwa n’ebirala naye nga bwonna, buba bukodyo bwa kufuna ssente.

6 Abeera n’ebyokwekwasa buli kiseera naddala ssinga omusaba okucakala naye. Munne bw’amugamba bagendeko mu kifo ekisanyukirwamu ng’akyaluka oba okubaako ensonga gy’ateekawo ebalemesa okugenda. Kino akikola olw’ensonga nti abeera tayagala basajja be balala kumusanga ng’apepeya naawe.

7 Tatera kwagala kwegatta naawe buli kiseera, ateekawo obusongasonga. Ebiseera ebimu omuwala alina abasajja abangi yeebuzaabuza ssinga munne aba amusabye beesanyuseemu mu nsanga za laavu. Abasinga tebabeera na bwagazi kubanga ku mutima gwe abeera tamulowoozaako.

8 Omuwala alina abasajja abangi tamala nnaku ziwera ssatu nga tannalwala. Ebiseera ebisinga agamba nti mulwadde era nga kino akikola olw’ebigendererwa bye omuli okwagala ssente, okwewala okukusisinkana ssinga obeera omusaba musisinkane, okukwegyakako okumukubirakubira essimu n’ebirala.

9 Takukkiriza kukwata ku ssimu ye. Ssinga omusaba ku ssimu ye ng’olina ky’oyagala okulaba oba okukubisaako takukkiriza kugikwatako era oluusi akiggiramu ddala oluyombo bw’ogikwatako, oba oluusi bagiteekako “password” nga n’omala omugamba okugigyamu tasobola kubanga abeera alinako ebyama by’atayagala olabe. Abasinga baba basajja be.

10 Takola pulogulaamu ya nkomeredde. Omuwala alina abasajja abangi pulogulaamu ze tezeesigika kubanga buli ddakiika abeera azikyusa ayinza okukugamba nti ajja ate n’abisazaamu oba n’akugwako bugwi kwekugamba ebintu bye tebitegeerekeka.

11 Omukazi alina abasajja abangi aba tayinza kwekweka kumala wiiki nga tomutegedde okusinziira ku bikolwa bye. Ky’ova olaba ng’abawala ennaku zino bafuna ebizibu muli okubakwata kubanga amala akabanga ng’alimba omusajja nti amwagala kyokka nga bw’amugamba beegatte nga yeebuzaabuza lw’amugwiikirizza n’amukaka omukwano n’oluusi okumutta.

12 Tayagala kukulaga baηηanda ze. Omuwala ow’ekikula kino, buli lw’omugamba mugendeko oba ewa maama, taata, ssenga, oba abooluganda abalala afuba okukubuzaabuza era bw’aba akuyambye akulaga mikwano gye egimu kubanga oluusi abeera alina be yalagayo edda nga gwe tayagala kukulagayo.

Fatumah Namazzi omukugu mu kubudaabuda abantu okuva e Kibiri agamba nti abasajja ssinga babeera mu kiseera eky’okunoonya omuwala omutuufu ow’okuwasa balina okubeera abegendereza kubanga abawala abamu bagamba abasajja bayaaye naye ate wewuunye, ennaku zino abawala be basinga obuyaaye.

Agamba nti abawala tebakyayagala kufumbirwa wabula babeera baagala kufuna bufunyi mu basajja ababeera babakwanye era omuwala ow’ekikula kino takyawa ate tagaana bamukwanye buli amukwana gw’agenda naye, ng’alowooza nti gy’akoma okuba n’abasajja abangi gy’akoma okufuna ssente, ekitali kituufu.

Namazzi akubirizza abawala okunyweerera ku musajja omu bwabeera alina ensobi gy’akola batuule boogere bwe bigaana bafune omuntu gwe beesiga abatuuze naye omuwala gy’akoma okwagala abasajja abangi gy’akoma n’okufuna endwadde.                                

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebbaale ng'asibye ebintu bye ku ggaali agenda.

Afuumudde muganzi we lwa ku...

OMUKAZI anaabidde muganzi we mu maaso n’akwata ebintu bye n’abimuweera ku poliisi ng’agamba nti amukooye olw’obutaba...

Amagye ne poliisi nga batangira abavubuka okukola effujjo.

Okulonda kw'abavubuka e Kay...

OKULONDA kw’abavubuka e Kayunga kuyiise omulundi ogw’okubiri oluvannyuma lw’enjuyi ezivuganya okulemwa okukkaanya...

Omusawo ng'akebera omukazi amannyo. Emabega ye Dr. Sseruyange ne Luswata.

Temulinda kulwala okugenda ...

Abatuuze b’e Nabbingo mu Kyengera Town Council bakubiriziddwa obutalinda kulwala okugenda mu ddwaaliro bajjumbire...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo mutabani wa Yiga

Paasita Bujjingo akungubagi...

Omusumba w'ekkanisa ya House of Prayer International Aloyzious Bujjingo agugumbudde abaavudeyo ne bogera amafukuule...

Yiga ne Nabbi Omukazi.

Nabbi omukazi ayogedde ebya...

MAGGIE Kayima, amanyiddwa nga ‘Nabbi Omukazi’ akungubagidde eyali bba ate mukama we, Pasita Augustine Yiga Abizzaayo...