TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Obubonero bw'omukazi atuuse ku ntikko

Obubonero bw'omukazi atuuse ku ntikko

Added 11th July 2017

“Mmaze emyaka 10 mu bufumbo naye emirundi gye nali ntuuseeko ku ntikko ngibalira ku ngalo, wabula lwe natuuka mu mbeera eyo nnina ebintu bye neetegereza nga birabika bye bannyamba okutuuka mu mbeera eno.

 Aboomukwano nga bali mu biseera byabwe eby’eddembe.

Aboomukwano nga bali mu biseera byabwe eby’eddembe.

“BULI lwe neegatta ne taata w’abaana nga nnina ebirowoozo situuka ku ntikko ne bw’annoonya okumala essaawa nnamba sikyukako. Kati yakimanyiira era akola by’ayagadde okutuusa bw’amalamu akagoba.”

“Nze namala emyaka 5 mu bufumbo naye nga situukangako ku ntikko, naye bwe nagendako ebbali mwana mulenzi ng’amanyi obukodyo n’antuusa mu ‘ggulu’.

Ekizibu nti byonna bye yakola siyinza kubitegeeza mwami wange, ye nga mbitandika ntya?” “Mmaze emyaka 10 mu bufumbo naye emirundi gye nali ntuuseeko ku ntikko ngibalira ku ngalo, wabula lwe natuuka mu mbeera eyo nnina ebintu bye neetegereza nga birabika bye bannyamba okutuuka mu mbeera eno.

Ekisooka, okuyingira ekisaawe nga sirina birowoozo, okubeera n’obwagazi obungi, wamu ne munnange okutwala obudde ng’annoonya.”

Ebyo bye bimu ku bintu ebyayogeddwa abakyala ab’enjawulo bwe baabadde mu musomo gw’abakulu gye buvuddeko.

Ensonga y’okutuuka ku ntikko twagyogeddeko wiiki ewedde, era abantu ab’enjawulo ne balaga ebintu omusajja by’alina okukola, olwo munne n’alyoka amalamu akagoba.

Wabula wadde abasajja abamu bafaayo ne bakola byonna bye wandirowoozezza, naye emirundi mingi era abakazi tebatuuka ku ntikko.

Bano abaagalana baabadde ku lubalama lw’ennyanja gye buvuddeko gye baabadde bagenze okulya ku bulamu n’okwemalako situleesi.

LWAKI ABAKAZI TEBATUUKA KU NTIKO?

Dr. Joseph Isabirye okuva mu ddwaliro lya Ripon falls e Jinja annyonnyola bwati;

1 Abakazi abamu tebatuuka ku ntikko kubanga ebiseera ebisinga naddala ennaku zino tebakyanyumya kaboozi lwa mukwano wabula lwakuba omuntu oyo omuwa ssente n’asalawo amusasule nga yeegatta naye. Omukwano ogw’ekikula kino kiba kizibu omukazi okutuuka ku ntikko kuba tewaba bwagazi.

2 Abawala abeegatta nga tebannaweza myaka 25 kizibu okutuuka ku ntikko kuba baba bakyali bato nga tebanneezuula bulungi naddala ebifo ebibacamula.

3 Bw’osanga omuwala oba omukazi eyali yeemazisizzaako, kiyinza okumubeerera ekizibu okwegatta n’omusajja n’amutuusa ku ntikko kuba aba yayonooneka ng’amanyi nti y’alina okwetuusa mu mbeera eyo.

4 Okuyingira akaboozi nga temwenoonyezza bulungi. Buli lwe muyingira ekisaawe musaanye okwenoonya musobole okunyumirwa wamu n’okufunamu ekinyusi naye bwe mumala gatandika omukyala abeera tasumuluddwa bulungi busimu obuleeta bwagazi nga buno bukola kinene okuyamba omukyala okumalamu akagoba.

5 Omusajja obutafaayo kunyumisa kaboozi. Waliyo abasajja abatamanyi bulungi kye balina kukola mu kisenge. Kino kibi kubanga ng’omukazi anaatuuka ku ntikko, munne avunaanyizibwa kinene. Okugeza ssinga munno omuwaanako, n’okyusa ne ku bukodyo kizibu obutanyumirwa.

6 Abasajja abamu bamalamu mangi akagoba, so ng’abakazi 90 ku 100 batwala akaseera okutuuka ku ntikko.

Emirundi egimu omukazi aba yaakakuηηaanya ebirowoozo Omukazi bw’atuuka ku ntikko bwengula ag’emugga geeyongera atandike okunyumirwa ng’ate munne amalamu akagoba.

Mu mbeera eyo, kizibu omukazi okutuuka ku ntikko.

Isabirye agamba nti okusinziira ku bakazi b’ayogera nabo, abakazi 85 ku 100 tebamanyi kutuuka ku ntikko naye nga kisinga kuva ku kwagala ennyo ssente ne beegatta n’abantu be batayagala.

Ekirala, abantu abamu okunyumya akaboozi tebakyagitwala nga nsonga nkulu, era asobola okukanyumya n’omuntu yenna gw’asanze nga tafuddeeyo oba anaanyumirwa oba taanyumirwe.

OMUSAJJA KW’ALABIRA OMUKAZI AMAZEEMU AKAGOBA

Akwerippako. Amazzi g’omukazi ng’amazeemu akagoba engeri gye gajjamu galina engeri gye ganyonyoogera omukazi n’ayongera okuwulira obwagazi n’obuwoomi ekimuleetera okwerippa ku munne nga tayagala kumuvaako.

Abeera takyayagala bya kwegatta era abamu atuuka n’okusindika munne eri nga tayagala kuddamu kumuliraana kubanga ky’aba ayagala abeera akifunye, ate mu bujjuvu.

Akkakkana omubiri gwonna era abamu wano bafunirawo otulo nga w’oyagala w’omuzza.

Ebigambo by’ayogera mu kaseera ako biba bitono ddala bw’obigeraageranya ne byaba afukumula nga mukyali mu kazannyo era nga tannatuuka ku ntikko, era abamu basirikira ddala n’abeera ng’atakyaliwo.

 

 

EBIBAYAMBA OKUMALIRA AWAMU

Alice Nalunga omukugu mu kubuulirira abafumbo n’abagenda okufumbirwa ng’abeera Kira agamba nti ebimu ku biyamba abaagalana okutuukira awamu ku ntikko mulimu;

1 Mwembi okussa ebirowoozo ku kyemukola. Kino kijja kubongera obwagazi obunaabayamba okutuuka ku ntikko.

2 Omukazi ng’oyagala okutuuka ku ntikko, weewale okwegatta mu kiseera nga tolina bwagazi, oba okwegatta n’omusajja gw’otoyagala.

3 Omusajja bw’oba omalamu mangu akagoba, osobola okufunayo obukodyo obukuyamba okuwangaalira mu kisaawe kiyambe ne munno okumalamu akagoba.

4 Fuba okumanya munno, omanye awava obwagazi bwa munno era omanye n’engeri y’okumunoonyaamu acamuke. Kino kijja kubayamba mwembi okunyumirwa akazannyo era mutuuke ku ntikko.

5 Mugambe akimanye nti oyagala mutuukire wamu ku ntikko. Kino bw’anaakimanyirawo nga mwakatandika ajja kukiteeka mu bwongo era mujja kulaba nga kituukiridde era nga munyumiddwa.

OKUMALA EMIRUNDI EMINGI KISOBOKA

Ali Mwesigwa abuulirira abafumbo agamba nti abakazi bonna baagala okutuuka ku ntikko, naye waliwo ebibalemesa. Agamba nti wabula ate eriyo abatuuka ku ntikko emirundi egiwera mu luzannya luno. Kino kisoboka mu bakazi okutuuka mu ntikko emirundi egiwera mu luutu emu nga kisinziira ku bungi bw’obwagazi omukazi bw’aba nabwo n’engeri gye yeesunzeemu munne.

Kino oluusi kibaawo ssinga omukazi atuuka ku ntikko nga mwakatandika okwegatta, ssinga Omukyala naawe fuba okweyamba otuuke ku ntikko. Okugeza munno bw’aba akunoonya naawe kozesa engalo, emimwa, ekiwato, n’ebitundu ebirala okulaba nga naawe weeyamba okutuuka ku ntikko emirundi egiwera.

Akakukufa okusibuka abalongo mulina okukakwata mu ngeri ey’enjawulo kubanga abakazi 90 ku 100 bafuna obwagazi bungi buli lw’omuweeweeta ku kakukufa kano mu ngeri entuufu.

Dr. Paul Tugume omukugu mu by’abakyala okuva mu ddwaaliro lya Rippon e Jinja agamba nti oluusi ebireetera abakyala obutatuuka ku ntikko bye birowoozo bye baba nabyo ate ne beekaka okwegatta.

Okugeza omukazi ateebereza bba obwenzi kizibu okutuuka ku ntikko nga yeegasse kuba obwongo bwe bubaamu obusungu era tayinza kumweyabiza bulungi, sso nga bino bikulu nnyo mu kuyamba omukazi okutuuka ku ntikko.

Tugume agamba nti waliwo kawagamubiri (hormones) ayamba omukazi okutuuka ku ntikko era ono asangibwa mu mubiri gw’omukazi.

Waliwo abalina omungi era bano oba waakamukwatako nga yacamuse dda. Ate waliwo abalima omutono ng’ono aba yeetaaga kuweeweeta okumala ebbanga asobole okucamuka.

Ate n’emyaka bwe gigenda gyeyongera, kawagamubiri ono agenda akendeera, kale nga kikwetaagisa ebbanga okunoonya munno asobole okuvaamu omwasi.

EBIBOOZIBOOZI EBYOGERWA KU KUMALAMU AKAGOBA

ABANTU ab’enjawulo balina endowooza ku nsonga y’okumalamu akagoba, kyokka ng’ebiseera ebisinga endowooza eno tebeera ntuufu.

Wabula olw’okuba abantu bangi baba bakitwala nti kye kituufu, omu yeesanga nga akkirizza, era n’akiremerako. Ebimu ku byogerwa ku nsonga y’okumalamu akagoba ebitali bituufu mulimu;

 Abakazi abakalu tebatuuka ku ntikko, kino si kituufu kubanga omukazi yenna asobola okumalamu akagoba kasita abeera ng’anyumiddwa akaboozi ate ng’omusajja amukutte bulungi.

 Omukazi okumalamu akagoba ateekeddwa okufulumya amazzi amangi okuva mu bukyala. Ekituufu kiri nti waliwo abakyala abayiwa amazzi ag’ekika kino, naye bano be batono ddala. Abakazi bangi bwe batuuka mu mbeera eno, amazzi geeyongera mu bukyala, naye tegafuluma.

 Abakazi abatono ennyo tebatuuka ku ntikko. Kino nakyo tekiriiko bukakafu kubanga omukazi ne bw’aba mutono afuna obwagazi era asobola okutuuka ku ntikko.

 Abawala abagazi tebatuuka ku ntikko. Kino kikyamu kubanga okutuuka ku ntikko tekiva ku butonde oba ku bugazi oba obuwanvu, wabula kisinziira ku ngeri omuntu gy’anyumiddwaamu akaboozi n’obwagazi bwe babeera nabwo nga bali mu kikolwa ekyo.

 Atalina balongo tatuuka ku ntikko. Kino nakyo si kituufu. Wadde abalongo bayambako omukazi okwongera okufuna obwagazi naddala nga munne amanyi okubanoonya naye n’abatabalina batuuka ku ntikko.

Ndibakooya

 

Lwe nasooka okutuuka ku ntikko nafuna olubuto

NZE Sarah Ndibakooya 30, mbeera Nansana nnina abaana babiri era ndi mufumbo nga mbumazeemu emyaka 7 era ensonga zitambula bulungi.

Omusajja gwe nasooka okubeera naye mu by’omukwano yali tategeera bulungi muzannyo era ng’eby’okutuuka ku ntikko sibimanyi.

Ebbanga lyonna lye nnamala naye nga twegatta naye nga simanyi nti omukazi atuuka ku ntikko. Naye bwe nagendako ebbali kye nasangayo kyanneewuunyisa.

Omusajja yandaga laavu nange ne ntya kubanga yantuusa mu mbeera gye nnali situukangamu. Yasooka kunnoonya okumala ebbanga ng’ampeeweeta amabeere, emimwa n’ebitundu ebirala ekyandeetera okufuna ag’emugga amangi ennyo, era omubiri gwonna ne gwesisiwala kye nnali sirabangako.

Bannange nanyumirwa kubanga natuuka ku ntikko emirundi ebiri nzenna ne nsannyalala omubiri nga gwonna gujjudde obwagazi.

Mu kaseera ako kennyini nagenda okulaba nga mmunyweza ate nga naye atuuse ku ntikko ne nzisa ekikkowe nga nninga abadde atambudde olugendo olwamaanyi.

Nnawulira obukoowu bungi nga saagala kuddamu bya kaboozi wadde kaali kampoomedde. Awo we nnamanyira nti mmazeemu akagoba!

Okumanya nanyumirwa olunaku olwo lwennyini lwe nafunira olubuto lwange olw’omwana asooka era ekyo kyansikiriza okumufumbirwa nga ndaba nti ajja kusobola okummatiza mu mukwano nneme kuwankawanka.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...