TOP

Laavu teyeetaaga kwegula

Added 12th July 2017

EBYO ebigambo bye muwandulira okukukumu nga mukwana bibafa bwereere.

Era omukazi bw’aba waakukwagala tekyetaagisa kwesoma n’otuuka n’okwewaayiriza nga wessaako ettaka eritali liryo.

Era n’ezo ssente z’osunda ng’omuwa mbu omutengule emmeeme, zikumenyera busa. Omukwano bwe guba gwa kujja, ggwo guwaguza gwokka.

Mwekuba bukubi luuso buli omu n’ategeera munne ky’agamba.

Omu bw’aba akyenyonyoongoza, munne n’amusaba okumubuulira gy’abeera, ate ne gwe basabye n’atagaana n’amulagirira.

Ggwe alina omwagalwa wo jjukira bwe mwatandika olabe oba ddala yakutawaanya! Omukwano ogutawaanya nga gutandika, era bimala ne bigaana.

Bwe guwangaala ennyo, myezi bwezi. Ezo ssente ggwe z’omuwa, ayinza obutazigaana, naye ate n’azikwata n’aguliramu omusajja omulala gw’ayagala ekirabo! Anti ggwe n’ozisunda ate nga ye oli gw’ayagala afa birabo!

Obwenzi bwe butambulira ku ssente ezo ze mumansa n’okwesoma. Era bw’amala okuzikusikulako, nga muteηηana. Ate naawe lwe zitabadde mu nsawo, otya n’okuggyayo ekyenyi okweraga omuwala oyo.

So nga laavu yo ate ewanvuwa na nnyo nga tewali ssente. Awatali leediyo, munno n’omuyimbirayo akayimba! Eyo capati ne mugiyuzaamu bibiri munywere ku caayi.

Beebo b’osanga nga ne mu kisenge nga basula ku kiwempe kya bitoogo, naye nga basanyufu bazibu. Kati bwe basituka, ate wamma ne banyumirwa obulamu okukamala.

Omukwano bwegutyo tegubaamu kulangira, omusajja okulangiranga omukazi nga bwe yamwagalako ssente ze. Era tegubaamu na kwekubagiza ku ludda lw’omukazi nti oba be yalekawo be baandisinze.

Wabula abali mu laavu bano bombi obuvumu bwabwe buba mu kukola ate ne bye bafunye byonna babikuuma butiribiri kubanga baba bamanyi gye baava.

Ate nga buli omu akozesa maanyi olw’okwagala okuyamba munne. Abali mu laavu bweti, buli omu ayiiyiza munne obulabolabo.

Omu ne bwaba yatambudde, n’asanga enswa, agulirako munne gwe yalese eka. So nga ggwe enswa wandizirabye ng’ekintu eky’okusaaga.

Abamu batya n’okuziriira mu maaso g’abaagalwa baabwe mbu ziswaza.

Noolwekyo abasajja muyige nti laavu tekakwa. Temwekutula nkizi nga mukwana. Bw’eba yaakujja, ejja yokka ng’eringa empendule.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lumu eyakubiddwa.

Avuganya ku bwakansala bamu...

JOE Lumu avuganya ku bwakansala bw'omuluka gwa Makerere 1 e Kawempe bamukubye ne bamwasa emimwa n'okumunyagako...

Hajjati Sarah Nannyanzi (ku kkono), Abel Bakunda amudidde mu bigere ne RDC w'e Kalungu, Caleb Tukaikiriza.RDC

Ssebo kolagana bulungi n'ab...

ABADDE omumyuka wa RDC mu Disitulikiti y'e Kalungu Hajjati Sarah Nannyanzi awaddeyo woofiisi eri Abel Bakunda amuddidde...

Abadde avuganya ku bwa Kana...

JOE Lumu  ayesimbyewo ku bwa kansala  ajja kulwawo ng'alojja akalulu olw'ekibinja ky'abavubuka  ekyamukakanyeko...

Kiyemba ng'akuba akalulu.

Nja kukkiriza ebinaava mu k...

Sipiika w'olukiiko lwa munispaali y'e Makindye, Muzafaru Kiyemba nga naye ayagala ntebe y'obwa mmeeya agambye nti...

Mmengo etabuse ne St Lawren...

OBUTAKKANYA bubaluseewo wakati wa Mmengo ne St.Lawrence Yunivasite ng'entabwe eva ku mwala oguva ku ttendekero...