TOP
  • Home
  • Ssenga
  • By'olina okukola okuba n'ebbugumu mu mbugo

By'olina okukola okuba n'ebbugumu mu mbugo

Added 18th July 2017

OBUSAJJA bugeraageranyizibwa ku kuuma akapima ebbugumu ly’omubiri gw’omuntu.

 Abaagalana mu biseera byabwe eby’eddembe gye buvuddeko.

Abaagalana mu biseera byabwe eby’eddembe gye buvuddeko.

OBUSAJJA bugeraageranyizibwa  ku kuuma akapima  ebbugumu ly’omubiri  gw’omuntu.  

Akuuma kano kateekebwa  ku bimu ku bitundu by’omubiri  awabeera obufunyiro naddala  mu nkwawa, oluusi mu kamwa  oba mu kabina k’abaana abato.  Kano omusawo kw’ategeerera  embeera omuntu gyalimu.

Bw’aba  n’ebbugumu eringi n’amanya nti  mulwadde olwo n’akebera okuzuula  ekimuluma.  

Mu ngeri y’emu, omusajja  bw’ayingira eri munne ky’asooka  okuwulira ly’ebbugumu ly’asanze  mu nju ya munne.

Akabugumu  ako bwe kaba nga k’abadde  ayagala kalina engeri gye  kongera okusumulula obuswandi  n’ayongera okucamuka, ekimuwa  ekyanya okusamba ekyenda ne  munne n’amatira.

 Wabula abasajja abamu bagamba  nti waliwo abakazi abataweza  bbugumu era bano bagamba nti  tebatera kunyumisa muzannyo  gw’abakulu.  

Ebbugumu mu mbugo lyeyongera  ssinga omukazi acamuka  anti kino kireetera omusaayi  okwongera okweyiwa mu bitundu  bino, ate ng’omusaayi gwe gutambuza  ebbugumu mu mubiri.

ENGERI GY’OKEBERA  EBBUGUMU MU MBUGO  

Kino tekikwetaagisa kusonsekayo  kuuma akapima ebbugumu  mu mubiri, nedda. Omukazi  osobola okupima ebbugumu  ng’okozesa olugalo lwo.

Nga  bw’osobola okuteeka olugalo  mu kamwa n’owulira ebbugumu  eririmu, osobola okuddira olugalo  n’olusonseka munda mu bukyala,  ojja kuwulira oba mulimu ebbugumu  oba temuli limala.

Bano abaagalana baabadde mu kifo ekisanyukirwamu nga beeraga omukwano. Okutambulako ababiri kyongera omukwano.

 

KIKI EKIREETERA OMUKAZI  OKUNNYOGOGA MU MBUGO?

1 Waliwo abantu nga mu  butonde balina ebbugumu ttono.  Kino kibaawo ku bakazi n’abasajja.  

Edith Mukisa omukugu mu  kubudaabuda abantu agamba  nti abantu abamu mu butonde  babuguma nnyo okukira bannaabwe.  Kino oyinza okukyetegereza  ng’okutte mu ngalo z’abantu  ab’enjawulo.  

Sso nga mu butonde, omubiri  gw’omuntu gwagererwa okubeera  n’ebbugumu  ery’ekigero  nga lirina  kutambulira  wakati wa  36.5 ne  37.5 °C oba  97.7–99.5  °F.

Wabula  ebbugumu  ly’omubiri  gw’omuntu  lisobola  okukyuka  okusinziira  ku myaka,  ng’alina  yinfekisoni  n’embeera  y’obudde.

2 Abalongo  nga  bawanvu  nnyo.  Abalongo  batondebwa  bampi era  ebbugumu  ly’omubiri  lirina we  lirina okukoma.  Kino  kitegeeza nti  bw’obaggya  enzigi nga  mpanvu  nnyo,  omusaayi  guyinza  obutatuuka  mangu mu  balongo bano ekiyinza okuvaako  okunnyogoga.  

Oluusi abalongo bw’obaleka  wabweru, ate nga bawanvu nnyo  ekibaleetera okusika empewo ne  bannyogoga ekikosa obukyala  bwonna.

3 Ennyambala embi. Engeri  omukyala gy’ayambalamu nayo  esobola okumuleetera okukendeeza  ku bbugumu ky’alina, naddala  abettanira engoye ennyimpi.  Kino kiyinza obutabeera ku bantu  abamu naye waliwo abakosebwa  embeera eno.

4 Okuzaala. Micheal Kagawa  omusawo w’abakyala e Mulago  era nga musomesa mu ttendekero  ekkulu e Makerere agamba  nti abakazi abamu bayulika nga  bazaala ekitegeeza nti obukyala tebusobola  kusigala nga bwe bwali.  

Mu mbeera eno, asigala mugazi  ekiyinza okumuleetera empewo  okuyingira nga beegatta, ne kikendeeza  ebbugumu mu mbugo.

5 Agattako nti oluusi omukazi  bw’ataba mu muudu ya kwegatta,  nakyo kireetera obukyala obutabuguma.  Omukyala bw’ataba  mu muudu omubiri teguyinza  kucamuka bulungi ekiyinza  okumuleetera okunnyogoga  mu mbugo.

Kyokka bw’oba  omuteeseteese bulungi n’afuna  obwagazi, omusaayi gweyongera  mu bitundu by’ekyama ekibireetera  okubuguma n’okutoba.

6 Ebirowoozo ebisukkiridde  oba situleesi. Oluusi omukyala  obutaba na bbugumu kiyinza  okuba nga kyamuyingira mu  birowoozo naddala ng’akyali  kimutuuseeko.

Ssinga omukyala  abeerako n’omusajja n’amugamba  nti ebbugumu lye terimala, ayinza  okukissa mu birowoozo olwo  buli lw’aba agenda mu kikolwa  n’abeera mu kweraliikirira ekibuza  obwagazi.

 Dr. Kagawa agamba nti ebbugumu  ly’omukyala likyuka  okusinziira ku biseera by’abaamu.  Okugeza omukyala bw’aba  mu nnaku mw’asobola okufunira  olubuto ebbugumu liba  lingi kuba n’obwagazi abeera na  bungi.

Wabula bw’aba mu nnaku  z’atafuniramu lubuto ebbugumu  liyinza okubeera ettono.  

EBISEERA OMUKAZI LW’ABA  N’EBBUGUMU ERINGI

Dr. Kagawa annyonnyola nti  mu mwezi, omukazi omulamu  obulungi atambulira ku lukomo  lwa nnaku 28 okutuuka ku lunaku  lw’agenderamu mu nsonga.

Obala  ennaku 14 okuva lwe wasembayo  okugenda mu nsonga okutuuka ku  lunaku lw’osuulirako eggi (ovulation).  Akaseera kano kabeera ka  njawulo nnyo era kyangu oku OBUSAJJA bugeraageranyizibwa  ku kuuma akapima  ebbugumu ly’omubiri  gw’omuntu.  

Akuuma kano kateekebwa  ku bimu ku bitundu by’omubiri  awabeera obufunyiro naddala  mu nkwawa, oluusi mu kamwa  oba mu kabina k’abaana abato.  

Kano omusawo kw’ategeerera  embeera omuntu gyalimu. Bw’aba  n’ebbugumu eringi n’amanya nti  mulwadde olwo n’akebera okuzuula  ekimuluma.  

Mu ngeri y’emu, omusajja  bw’ayingira eri munne ky’asooka  okuwulira ly’ebbugumu ly’asanze  mu nju ya munne.

Akabugumu  ako bwe kaba nga k’abadde  ayagala kalina engeri gye  kongera okusumulula obuswandi  n’ayongera okucamuka, ekimuwa  ekyanya okusamba ekyenda ne  munne n’amatira.

 Wabula abasajja abamu bagamba  nti waliwo abakazi abataweza  bbugumu era bano bagamba nti  tebatera kunyumisa muzannyo  gw’abakulu.  

Ebbugumu mu mbugo lyeyongera  ssinga omukazi acamuka  anti kino kireetera omusaayi  okwongera okweyiwa mu bitundu  bino, ate ng’omusaayi gwe gutambuza  ebbugumu mu mubiri.

ENGERI GY’OKEBERA  EBBUGUMU MU MBUGO

 Kino tekikwetaagisa kusonsekayo  kuuma akapima ebbugumu  mu mubiri, nedda. Omukazi  osobola okupima ebbugumu  ng’okozesa olugalo lwo.

Nga  bw’osobola okuteeka olugalo  mu kamwa n’owulira ebbugumu  eririmu, osobola okuddira olugalo  n’olusonseka munda mu bukyala,  ojja kuwulira oba mulimu ebbugumu  oba temuli limala.  

 

 OBUZIBU BW’EBBUGUMU ETTONO

 Mukisa annyonnyola nti omusajja oluba okuyingira mu  bukyala, ky’asooka okulozaako  kabeera kabugumu akali mu  bukyala. Bwe waba wabuguma  awulira bulungi.

Akabugumu  kano kamumalako obukoowu  ne situleesi ekimuyamba  okutebenkeza ebirowoozo  kubanga kye kifo ekituufu  omusajja w’aba ayagala okufunira  obubudamu mu kaseera  ako ekimuleetera obwagazi  n’obusajja ne bwongera okuwaga.  

Naye watya ng’asanze ekifo  kyonna tekiriimu kabugumu  kamala? Ebiseera ebisinga ayinza  okufuna ekyekango n’olugendo  n’alusazaamu kubanga amaanyi  gamuggwaamu ekibaleetera obutanyumirwa.  

Bwekiba nga y’embeera munno  gy’atambuliramu, mwetaaga  okweteekateeka obulungi kisobozese  omubiri okusaka ebbugumu  erimala.

Okugeza, bwe mumala  okunaaba, bulyomu yeekukume  mu munne oba okwebikkako mu  bulangiti kuba kiyambako omubiri  okusaka ebbugumu eryetaagisa  nga temunnayingira kisaawe.

OMUKAZI BY’ALINA OKUKOLA OKUKUUMA EBBUGUMU  Okweteekateeka obulungi nga  mugenda mu kaboozi kiba kiyambako  omubiri okubuguma ekireeta  obwagazi ne munyumirwa.

 Dr. Kagawa annyonnyola nti  omukazi alina okukuuma ebitundu  byekyama nga biramu bulungi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.

Mukaku ( ku kkono), Kato Lubwama ne Nyanzi ( owookubiri ku ddyo) mu lumbe.

Ekiri mu lumbe lwa Sebaggal...

Gavumenti esasudde obukadde 60, eddwaaliro lya IHK ze libadde libanja okujjanjaba Hajji Nasser Ntege Sebaggala...

Sebaggala ng’ayogera eri abawagizi be ku kabaga k’okumaliriza emisomo akaamutegekerwa ku Pope Paul e Lubaga mu 2003.

Ensonga lwaki Sebaggala bam...

ALHAJJ Nasser Ntege Sebaggala (Seya) afudde alese ekiragiro ekirambulula engeri gy’alina okuziikibwamu. “Tuli Basiraamu...