
Nayiga
BANNANGE oba abasajja baagala ki kubanga ne bw’omwagala n’omuwa omutima gwo gwonna bw’atuuka okukukyawa ebyo tabijjukira.
Nze Alice Nayiga, nnina emyaka 30. Mbeera Kyanja. Nasisinkana baze mu 2003 bwe nali nkyabeera e Bunnamwaya ng’ebiseera ebyo gye nnali nkakkalabiza emirimu gyange.
Nzijukira bwe nali nkyabeera e Bunnamwaya olunaku lwali lwa Ssande ku ssaawa 1:00 ez’ekiro ne ηηenda mu bbaala okunywa ku mwenge olwatuukayo ne nsaba eya Nile.
Nnali ntudde nga ngitandiseeko ne zireeta omusajja ayitibwa Mutooro n’ajja atuula ku mmeeza kwe nnali ntudde naye n’asaba eccupa ya club wamma gwe awo ne tutandika oluboozi.
Twali tukyanyumya omusajja ono kwe kuntegeeza nga bw’ansiimye era n’ansaba okubeera mukyala we wabula essaawa eyo we yaηηambira nalaba nga kumpi buli kyange kiteredde era bwe twali twawukana kw’olwo yandekera akannamba era bulyomu nadda ewuwe.
Kye siyinza kwerabira ekiro ekyo seebaka ku tulo kubanga buli kadde yali ankubira essimu okumbuzaako nga bwendi era ng’okuva kwolwo twasigala tulabagana nga bwe tugenda ne tutambulako bulyomu n’adda ewuwe.
Nga wayiseewo ebbanga lya mwezi gumu nava gye nnali mbeera ne ηηenda ewa musajja wange ne ntandika okubeera naye.
Waayitawo ebbanga ttono ne nfuna olubuto ne nzaala omwana wa bulenzi.
Tewaayita bbanga ddene ne nziramu ne nfuna olubuto olulala ne nzaala omwana owookubiri ow’obuwala.
Wabula nga mmaze okuzaala omwana owookubiri baze yatandika okukyusa embeera ze nga takyanfaako ate nga n’ebintu awaka takyabigula era nagenda okukizuula nga yali afunyeeyo omukazi omulala.
Kyokka okumanya abasajja bazibu, abaana bwe baakulamu n’abanzigyako n’abatwala mu kyalo nze n’angoba era n’antegeeza nga bw’atakyanneetaaga.
Wabula okuva baze lwe yansuulawo embeera yatandika okunkaluubirira kubanga sikyalina wa kusula.
Kati nsula mu mikwano gyange nga n’olumu n’ekyokulya sirina. Njagala baze akomewo tuddiηηane tusobole okukuza abaana baffe.