TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Obukodyo bw'abasajja obusikiriza abakazi okubawa ebintu amangu

Obukodyo bw'abasajja obusikiriza abakazi okubawa ebintu amangu

Added 25th July 2017

Abamu bw’afuna omukazi ateeka ebifaananyi bye ku mukutu gwe ogwa ‘facebook’ ne ku ‘Whats App’ okwongera okulowoozesa omukazi nti talinaayo balala.

 Abaagalana mu biseera byabwe eby’eddembe gye buvuddeko.

Abaagalana mu biseera byabwe eby’eddembe gye buvuddeko.

EBISEERA ebisinga omusajja bw’asiima omukazi oba omuwala obwongo buddukira ku bya kwegatta.

Era abasinga bw’aba aweereddwa omukisa kizibu okusuula siteepu.

Ebimu ku bintu abasajja bye bakola okusikiriza abakazi baleme kubalwisa kubaloza ku ssukaali waabwe mulimu;

1 Okunyumya emboozi z’okwegatta. Abasajja abamu bw’aba ayagala okwegatta n’omukazi, buli mboozi z’anyumya ziba zikwata ku bya kwegatta ekikyusa omukazi ebirowoozo naye n’atandika kulowooza ku bya kwegatta, era bw’amusaba abeera sindise asitamye.

2 Beegulumiza nga bwe bali abakugu mu by’okwegatta, nga bw’amanyi okunoonya omukazi era bw’atayinza kwegatta na mukazi n’atatuuka ku ntikko. Oluusi omukazi bw’awulira ebyo talonzalonza ng’akkiriza naye aloze ku ssanyu eryo.

3 Aweereza obubaka obuteeka omukazi mu muudu z’okwegatta. Okugeza ayinza okuba nga yaakamusaba omukwano, n’atandikirawo okumuweereza obubaka ku ‘WhattsApp’ okuli ebifaananyi by’abali obwereere ssaako obutambi bw’abeegatta. Bino byonna birina engeri gye bikyusa obwongo bw’omukazi era kiba kizibu lwe muddamu okusisinkana obuteegatta.

4 Ennaku zino omusajja bw’aba ayagala okwegatta n’omukazi gwe yeegombye amulaga nga bw’abadde anoonya omukazi owokuwasa, era nti tayagala bya kiyaaye. Kino kirowoozesa omukazi nti ddala afunye omusajja ali siriyaasi, era y’ayinza n’okusaba omusajja beegatte, si kulwa ng’amufi irwa. Ebyembi olumala okwegatta, omusajja ayinza obutaddamu kunyega ku bya kumuwasa.

5 Okufaayo ennyo. Omusajja ng’ayagala okwegatta n’omukazi afuba okumulaga nti afaayo ng’amukubira essimu buli kiseera, amuweereza mesegi, oluusi ne ssente z’okukozesa wadde aba tazimusabye. Kino kireetera omukazi okulowooza ennyo ku musajja oyo era kiba kizibu okumulumya nga tamuwa kaboozi.

6 Akulaga obumalirivu nti ajja kusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwonna omuli okukola ku byetaago by’omukazi byonna, era bw’amusaba ez’enviiri azimuwa, naye bw’amala okwegatta taddamu kubikola.

 

7 Bambala bulungi. Omusajja ayagala okusikiriza omukazi okwegatta naye ayambala bulungi wadde engoye ziyinza obutaba za bbeeyi. Kino kisikiriza omukazi n’amuwa by’ayagala.

8 Yeesoma nti ava mu famire nnungi oba alina omulimu omulungi era ssente si kizibu kye. Wabula oluusi ayinza okuba nga mwavu era nga ne famire mwava si ya maanyi, era bino oluusi ogenda okubimanya nga by’ayagala yabifuna dda.

9 Akuyamba mu bizibu. Omusajja ayagala okusikiriza okwegatta naye amangu afuba okulaba ng’akuyamba mu bizibu by’obeera nabyo mu kiseera ekyo. Okugeza bw’ofi irwa ajja n’asula mu lumbe, bw’oba mulwadde akujjanjaba era n’asasula ne bbiiru y’eddwaaliro okukulowoozesa nti wa buvunaanyizibwa. Naye bw’afuna ky’ayagala we bikoma.

10 Omusajja bw’aba amanyiddwa okugeza nga ssereebu abeera n’endowooza nti buli gwe yeegomba alina okwegatta naye ate mu bwangu era bw’akusiima tadda mu bya kwegayirira, ate n’omukazi bw’alaba ssereebu ayinza obutasibaamu.

11 Atambula n’emikwano egy’akabi ekisikiriza omukazi okwegatta naye ng’amanyi nti omusajja gw’afunye wa bbeeyi nga mikwano gye, sso ng’oluusi taba wa bbeeyi n’akamu.

12 Bavuga emmotoka ez’ebbeeyi kubanga bakimanyi nti abakazi baagala nnyo emmotoka, era omukazi olulaba ng’omusajja yeevuga ayinza obutasibaamu.

13 Abamu olufuna omukazi ng’amulaga w’abeera. Kino kyongera okukakasa omukazi nti ddala omusajja talina mukazi mulala n’amwewa. Wabula bw’amala okwegatta naye w’ategeerera nti gye yamutwala si ge maka ge, gayinza okuba aga mukwano gwe omuwuulu oba nga yagapangisa kugakozesa nga loogi mw’asisinkanira abakazi be yeegatta naye.

14 Omukazi gw’akwana amutwala mu bifo eby’ebbeeyi, oluusi n’amunywesa n’omwenge n’atamiira ng’ayagala beegatte kw’olwo.

15 Afuba okumutonera ebirabo n’okumutwala ku ‘shopping’ ayongere okumusikiriza okukkakkana ng’amuwadde omukwano.

16 Abamu bw’afuna omukazi ateeka ebifaananyi bye ku mukutu gwe ogwa ‘facebook’ ne ku ‘Whats App’ okwongera okulowoozesa omukazi nti talinaayo balala. Kino kyongera okulaga omukazi nti ddala omusajja ali siriyaasi era amwagalira ddala era n’akkiriza beegatte.

Alice Nalumansi omukugu mu kubuulirira abafumbo agamba nti abawala n’abakazi oluusi ebibamalamu biba bitono sso ng’ate bwe muba mwegasse toyinza kukisiimuulawo.

Agamba nti kirungi omukazi oba omuwala bw’oba n’omusajja akusaba omukwano okwewa obudde omwetegereze.

Nalumansi agattako nti abamu bayinza okweraba olunaku lumu era ne beegatta ate ne bawangaala mu bufumbo naye era bano be batono nga ku 100, bali 10 bokka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...