TOP

Lwaki abakazi b'ennaku zino benzi?

Added 25th July 2017

SSENGA ennaku zino abakazi benzi nnyo?

SSENGA ennaku zino abakazi benzi nnyo, olowooza kivudde ku ki?

Obwenzi tebususse mu bakyala bokka, wabula ne mu basajja.

Sijja kugamba nti abakyala oba abasajja be basinga obwenzi kubanga tewali bwino mu kunoonyereza naye embeera ekyuse nnyo mu maka.

ηηenda kwogera bintu nga bisatu ebireese obwenzi mu maka. Ekisookera ddala, abafumbo abasinga ennaku zino si bafumbo naddala mu bavubuka wabula basuubuzi.

Ennaku zino abavubuka bangi bagenda mu bufumbo nga si bamalirivu nti ddala bagenda kukola maka.

Oyagala omuntu mu myezi ng’etaano nga musalawo nti mugenda kukola maka. Era nga mufuba okulaba nti mukola omukolo ogusinga ogwa gundi, naye nga temufuddeeyo gye mulaga.

Bwe mutuuka mu bufumbo ng’otandika okulaba nti oyo si muntu omutuufu gwe wali oyagala okufuuka maama oba taata w’abaana. Kino ne kivaamu obwenzi kubanga toli mumativu.

Ate kubanga tolina bantu b’osobola kwebuuzaako kubanga n’abazadde temubatwala ng’ekikulu, weebuuza ku banno nga bakugamba nti beerayo naye funa ‘side dish’.

Abazadde kati tebakyalina mukono mu maka ga baana baabwe ate n’abaana tebatwala bazadde nti balina omugaso. Ekirala ekireese obuzibu y’enfuna.

Abavubuka abasinga batunuulira ssente, tebaagala bufumbo butaliimu ssente tebamanyi nti ssente bakola nkole.

Kale ssinga okuliriza ssente mu bufumbo kizibu obufumbo okuwangaala. Era bw’ofuna akuwa ssente ogenda n’oyo.

Ekisembayo abantu tebakyatya kwenda, era kyafuuka kya muzannyo.

Ate n’abakulu nabo benzi kati abavubuka banaalabira ku ki? Mwana wange eyo y’embeera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...