TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebireetera abakazi okuyoya akaboozi ate olulala ne kabawunyira zziizi

Ebireetera abakazi okuyoya akaboozi ate olulala ne kabawunyira zziizi

Added 1st August 2017

Bwemba naakamala ensonga mbeera njagala nnyo okwegatta n’omusajja kyokka bwe wayitawo ennaku 13 era obwagazi ne bukomawo era bwe mbeera ndi kumpi kugenda mu nsonga era nfuna obwagazi.

 Abaagalana nga bali mu mukwano.

Abaagalana nga bali mu mukwano.

ABAKYALA abamu tebamanyi lwaki oluusi bafuna obwagazi wadde ng’omusajja tannamunoonya, ate ng’olulala ne bw’amunoonya okusuula enjuba obwagazi bugaanira ddala.

Dr. Richard Muzzanganda akola ku nsonga z’abakyala mu ddwaaliro lya DACE agamba nti omwezi gw’omukazi gugabanyizibwamu emirundi esatu, era nga gino gikola kinene ku bwagazi bwe.

Agamba nti ekitundu ekisooka kyekyo ng’ali mu nsonga, mw’asuulira eggi, ate ekisembayo ng’agenda mu nsonga, era ebiseera ebyo omukazi abeera n’obwagazi bwa njawulo.

Muzzanganda agamba nti mu kiseera ng’eggi lisembedde, omukazi abeera n’obwagazi bungi kubanga obusimu bwa ‘testrogen’ ne ‘prostegen’ obuleeta obwagazi bulinnya omukyala n’afuna obwagazi bungi.

Era ssinga omukazi yeegatta mu kiseera kino naddala nga talina nkola ya famire pulaaningi gy’akozesa kyangu okufuna olubuto.

Muzzanganda agamba nti abakazi abali wakati w’emyaka 23 - 45 bafuna nnyo obwagazi nga bali kumpi kugenda mu nsonga, ng’eggi lisembedde era abasinga mu kino ekiseera bwe bakola akaboozi batuuka ku ntikko ne banyumirwa.

Entambula y’omusaayi ekyuka mu kiseera ng’omukazi yaakava mu nsonga era ebiseera ebisinga omukyala nga yaakamala ensonga nga waakayitawo ennaku nga 3 afuna obwagazi bw’akaboozi kubanga bw’abeera mu nsonga abeera afulumya eggi eritaafuna nkwaso.

Muzzanganda agamba nti kiba kirungi omusajja n’amanya ennaku za mukazi we kubanga leero ayinza okwegatta naye ng’ali mu nnaku z’obwagazi n’aleeta ag’emugga mangi ate olulala n’amusanga nga tali mu nnaku ze n’atamunoonya kimala n’abeera mukalu, ekiyinza okulowoozesa omusajja nti munne alina gye yayitidde.

 

OBALA OTYA ENNAKU ZO

Dr. Muzanganda agamba nti omukazi agenda mu nsonga oluvannyuma lw’ennaku 28 oba 30, bwe wayitawo ennaku 12 (ng’obaliddemu n’ezo ng’ali mu nsonga) eggi lisembeera omukazi n’abeera n’obwagazi bungi era ssinga mwegatta naye nga talina nkola ya famire gy’akozesa kyangu okufuna olubuto.

Embeera eno ebaawo okutuukira ddala ku lunaku olwa 17. Waliwo n’abafuna obwagazi nga banaatera okugenda mu nsonga, sso ng’ate abalala baba tebaagala bya kwegatta.

BY’OKOLA OKULAGA MUNNO NTI OYOYA KABOOZI

Emirundi mingi abakyala bayoya akaboozi wabula ne balemwa okutegeeza abaagalwa baabwe olw’ensonyi.

Ebimu omukyala by’ayinza okukola okutegeeza munne nti ayagala kwegatta mulimu;

1 Yambala mu ngeri esikiriza. Okugeza bw’oba ng’oli mwambazi wa ngoye mpanvu, mu nnaku ezo mwambalire kookoonyo, ajja kukitegeera.

2 Munyumize emboozi ezimuleetera obwagazi, ojja kulaba nga naye atereera mu layini.

3 Kozesa omubiri gwo okugeza, amabeere, emimwa, ebigere, amaaso n’ebirala okumulaga nti omwetaaga.

4 Bwe muba mu kisenge oyinza okusalawo okumweyambulira nga tolina ky’omunyeze, ajja kwewuunya naye ate afunirewo obwagazi.

5 Muteereko akamwenyumwenyu naddala mu kisenge, ajja kumanya ky’omusaba.

6 Oyinza okumuweereza obubaka obumuteeka mu muudu omuli obutambi n’obufaananyi bw’omukwano.

7 Bwe muba mu kisenge muteereko obuyimba bw’omukwano oba okuteekako fi rimu z’omukwano ajja kucamuka.

8 Osobola n’okumuzuukusa ng’omuweeweeta mpolampola, ajja kumanya ky’oyagala era akikuwe.

OBUBONERO BW’OMUKAZI AYOYA AKABOOZI

Alaga okufaayo okw’enjawulo eri omwami we n’amukolera by’atakola bulijjo.

Aweereza munne obubaka obw’omukwano wadde buyinza okuba nga tebisaba kaboozi. Okugeza ayinza okuweereza ebifaananyi bye ng’ayambadde engoye eziraga ebitundu by’omubiri asobole okukusikiriza.

Abamu abeera yeekukuutiriza ku mwami we buli kiseera nga tayagala kumuva ku lusegere.

Omubiri gwe guba gubuguma mu ngeri ey’enjawulo era bw’omukwatako mu mbugo abeera atobye, wadde aba tannaba kwegatta era nga tewali amukutteko.

Namutebi

 

NZE NJOYA NGA NAAKAVA MU NSONGA

NZE Lillian Namutebi 30, mbeera Nansana. Mbwemba naakamala ensonga mbeera njagala nnyo okwegatta n’omusajja kyokka bwe wayitawo ennaku 13 era obwagazi ne bukomawo era bwe mbeera ndi kumpi kugenda mu nsonga era nfuna obwagazi.

Naye ekirungi omwami wange antegeera era bwe mbeera mwekyo ekiseera naye anyumirwa akaboozi kubanga ag’emugga mbeera na mangi era nange mbeera nnyumirwa akaboozi.

Bwe mbeera mwezo ennaku omwami wange mukubisa bikolwa kubanga nnyambala obugoye obulaga omubiri era nze ekyo kye kimpangaaziza n’owange. 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...