
NZE Darius Kiige, nnina ekizibu ky’omukazi kuba buli kiseera abeera ayagala kazannyo ne bwe buba misana oba ku makya.
Darius ndowooza omukyala ono gw’olina akyali muvubuka n’ekirala nga talina kya kukola.
Kubanga okwagala okwegatta buli kiseera olina okubeera n’obudde obw’okwegatta era n’okuteeka ebirowoozo ku kwegatta.
Mpozzi abakyala abamu bwe bafuna kandida baba baagala okwegatta kuba baba basiiyibwa noolwekyo bwe mwegatta obeera omutakula n’awulira bulungi.
N’ekirala oba omukyala ono ayagala nnyo okwegatta nga naawe olina ebiseera tekirina mutawaana.
Naye kizibu okwegatta buli kiseera ng’abatalina kya kukola. Ekirala embeera eno etera okubeera mu bavubuka kubanga obwagazi bubeera bungi.
Naye era bwe mukikola buli lunaku buli kiseera era obwagazi bukendeera temusobola kukikola ne mumala wiiki ssatu.
Kale oba ono asobola okiwangaaliramu wiiki ezisukka mu ssatu ayinza okubeera n’ekizibu era yeetaaga mukugu.