TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja yanjooga ne mmwesonyiwa kyokka akyannondoola

Omusajja yanjooga ne mmwesonyiwa kyokka akyannondoola

Added 5th August 2017

Olugendo lwange olw’omukwano terubadde lwangu, era abasajja ngezezzaako ab’enjawulo naye nga tulemagana.

 Nakisitu

Nakisitu

NZE Mariam Nakisitu 39, nga ndi musibi wa nviiri, mbeera Mulago.
Olugendo lwange olw’omukwano terubadde lwangu, era abasajja ngezezzaako ab’enjawulo naye nga tulemagana.
 
Obufumbo bwe ndimu nagenda okubuyingira nga nninayo abaana bange be nnasooka okuzaala, era omusajja gwe nafuna eby’okuzaala
yali yabivaako.
 
Okumpangula yasiitaana kuba eby’abasajja nnali nsazeewo mbyesonyiwe nkuze abaana bange.
 
Wabula oluvannyuma twayagalana, okukkakkana nga tufunye n’abaana babiri.
 
Obufumbo bwange bubadde butambula bulungi.
 
Munnange akola gwa busuubuzi era abadde ampa buli kyetaagisa
nga sijula.
 
Wabula olw’okuba munnange nnali mweyabiza ku nsonga z’obulamu bwange bwonna omuli n’abasajja be nasooka okuganza, yatuuka
ekiseera n’akikozesa ng’akakodyo n’atandika okunjolonga.
 
Yatuuka n’okugamba nga bwe sisaanidde kumwanjula waffe
kubanga nkaddiye ekyayongera okunnennyisa omutima.
 
Ebbanga lyeyongera nga tuli mu kusika omuguwa, omusajja
n’atuuka okwawulamu ebintu n’agenda mu kazigo n’atandika okukyusanga abawala nga bw’ayagala.
 
Bino nabitegeera naye saamunyega nga neewala okukomya okutuwa
obuyambi.
 
Wabula oluvannyuma lw’ekiseera nagenda okulaba ng’akomyewo, ne mmwaniriza, era naye n’anneetondera olw’engeri gye yali ampisizzaamu.
 
Bino olwaggwa n’addamu okunvuma n’okunjolonga, kwe kusalawo okumwesonyiwa. Lumu nnali ku mulimu ne nfuna essimu nga mukwano gwange antegeeza nga bw’alabye baze n’omuwala nga beesogga akazigo ke yali apangisizza.
 
Nabawondera era ne mbasanga nga bali mu mukwano, kwe kumutegeeza ng’omukwano gwaffe bwe guweddewo, buli omu akole
bibye.
 
Ekizibu nti n’okutuusa kati omusajja akyannondoola ng’ayagala tuddihhane.
 
Nsaba abasomi ba Bukedde mumpe ku magezi nkole ntya okwetakkuluza ku musajja kubanga nsobeddwa
ekyokukola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu