TOP

Buno bulwadde ki ?

Added 9th August 2017

Ssenga ndabika nnina obulwadde bw’ekikaba naye ntya okubuulira omwami wange kubanga agenda kunnenya nti nnaaleeta obulwadde ate ng’okuva lwe yampasa siddangamu kulaba musajja mulala.

Ssenga ndabika nnina obulwadde bw’ekikaba naye ntya okubuulira omwami wange kubanga agenda kunnenya nti nnaaleeta obulwadde ate ng’okuva lwe yampasa siddangamu kulaba musajja mulala.

Kati mmaze emyaka etaano nga nfumba naaye nnina ensundo mu bitundu by’ekyama.

Nkoze ntya, abafere balidde ssente zange naye tebanyambye.

Mwana wange okusookera ddala oba omaze emyaka etaano mu bufumbo tomanya oyinza okuba nga wagenda okufumbirwa ng’olina ensundo zino.

Ensundo bulwadde bwa kikaba naye zikula mpola era nga bw’olaba ensundo ezibeera ku mubiri.

Abakyala abangi nga bw’omanyi tebafaayo kwetegereza bitundu byabwe eby’ekyama ate nga kikulu nnyo kubanga bw’okikola omanya oba olina ensundo, oba ebbwa.

Naye ensundo kubanga teziruma oyinza okuba nazo nga tomanyi. Ate era mwana wange nkwebaza okubeera omukyala ddala omufumbo n’otayenda kati emyaka etaano era genda mu maaso.

Naye era tomanya munno ayinza okuba nga ye yakusiiga ensundo zino.

Kati mwana wange oba omutya nti ayinza okuyomba genda ofune obujjanjabi e Mulago nnamba 12 naye oyinza okuddamu okuzifuna ssinga balo tafuna bujjanjabi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...