TOP

Biibino ebiremesa abantu obufumbo

Added 23rd August 2017

Ku myaka gino egy’ekivubuka omuntu aba anyirira era kyandibadde kirungi okukozesa akakisa kano, naye waliwo ensonga nnyingi eziremesa abantu.

Abaagalana nga bali mu mukwano

Abaagalana nga bali mu mukwano

BULI muntu bw’akula aba asuubirwa okufumbirwa oba okuwasa.

Mu mateeka ga Uganda omuntu awezezza emyaka 18 wa ddembe okufumbirwa naye lwa kuba abamu baba bakyasoma abamu bagumiikiriza okutuuka ku myaka 25.

Ku myaka gino egy’ekivubuka omuntu aba anyirira era kyandibadde kirungi okukozesa akakisa kano, naye waliwo ensonga nnyingi eziremesa abantu.

1 Okulowooleza omuntu ky’atali. Buli muntu alina engeri gy’atunulamu era osanga abantu abamu nga batunula ng’abakambwe, abalala batunula ng’abanyiivu, waliwo abatunula ng’ababuukabuuka. Abantu nga bano baba beetaaga kuweebwa mukisa olyoke omanye ekituufu. Okugeza oli natunula ng’omukambwe kyokka nga bambi bw’omusemberera si mukambwe nakamu. Noolwekyo abasinga ono bw’amutunulako adduka buddusi.

2 Amalala oba okwemanya. Omuntu alina amalala gasobola okumulemesa omuntu gwe yandiwasizza. Ate bwe kituuka ku bawala nabo okwemanya kuyinza okumulemesa okufumbirwa anti nga buli akutuukirira ng’olaba wa wansi nnyo.

3 Okuwuliriza eηηambo.Si buli muntu nti akwagaliza omuntu gw’oba ofunye. Waliwo abantu abasobola okukwogerera nga bamaze okulaba nti olina omuntu gw’oyagala okuwasa oba okufumbirwa abamu nga balina ebigendererwa byabwe. Abamu bamanyi okuwaayiriza muganzi wo nti alina siriimu, malaaya, yaggyamu embuto, mwenzi ewaabwe basezi n’ebirala. Kati bino bw’obiwuliriza nga tosoose kunoonyereza ekivaamu omuntu kumwesamba ate n’ebyokuwasa ne bikulema.

4 Obutaba mumativu. Omuwala oba omusajja eyatondebwa nga tamatira bangi balemererwa obufumbo. Alaba omuwala n’amwagala ate aba akyamuganza n’alabayo amusinga akabina ate n’amuta nagenda n’oyo, aba akyali n’alaba omweru ennyo ate n’owakabina n’amuta nadduka n’oli. N’omuwala atamatira abeera yaakafuna owakalevu ate n’alaba omuwanvu ate n’adduka n’oyo, bw’alaba ow’amaaso ate nga naye n’amukkiriza. Kino kisobola okukulemesa okuwasa oba okufumbirwa. Jjukira nti kizibu okusanga omuntu atuukiridde.

5 Okutunuulira omuntu gy’ava. Buli omu abeera ko n’obuzaale bwe era ffenna tetufaanagana. Osobola okusanga omuntu mu kibuga ng’atandise okwezimba naye ng’ewaabwe y’asoose okuvaayo era ng’abasinga tebali bulungi. Abawala abamu balina endowooza egamba nti nze sifumbirwa musajja ng’ewaabwe ye mugagga kubanga abeηηanda baba bajja kutusabiriza nnyo batumaleko n’emirembe. N’osanga ng’omuwala asuddewo omusajja olw’akasonga akatono ako ate oluvannyuma ne yejjusa ng’emyaka gimugenzeeko.

6 Okusoma kw’omuntu. Okusoma kirungi naye kifuuka kibi ng’omuntu ky’akulembeza mu buli kimu ne mu byobufumbo. Teri we kyawandiikibwa nti ataasoma talina kuwasa yasoma.

Osanga abawala n’abalenzi nga bawera nti atali ku guleedi yange sirina gye mutwala era oli n’afuna omuntu ng’amwagala naye olwokuba yakoma mu siniya ate ono ye wa ddiguli n’amusuula.

Kati olwo bw’akubula oyinza okwekanga ng’emyaka gikuyiseeko n’otofumbirwa 7 Okukkiriza ab’eηηanda okukusalirawo.

Abeηηanda balungi nnyo mu bulamu bwaffe era n’ebirowoozo byabwe birungi naye olumu basukka we bandikomye. Oyinza okufuna omuntu wo ng’omwagala naye ne batandika ‘ nze omukazi gwolonze saamusiimye, nze ndaba takusaanira mu maka, kyokka oluusi nga tebalina na nsonga. Kati bwobagenderako osanga obufumbo tokwasizzaamu.

8 Abapimira omukwano ku ssente. Kino kisangibwa nnyo mu bawala. Omuvubuka bw’amuganza ng’awera okulaba nti omusajja ono anjagala era ayagala kumpasa kamusabe ssente ennyingi ndabe oba anaazimpa kyokka ng’oluusi n’omulenzi agamba kandabe oba omuwala ono anjagala byalaavu sso si ssente. Ekivaamu nga buli omu atambulamu. Buli musajja gw’afuna bwamukola bwati yeesanga emyaka gimuweddeko.

9 Okufuna omuntu omukyamu. Abangereza balina eηηombo egamba nti emyaka muwendo buwendo. Kino kituufu naye nga tekisusse. Omuntu bw’afuna munne nga benkanya emyaka oba katugeze ng’omusajja asingako omuwala emyaka nga 3-10 awo si wabi. Naye osanga omuwala ng’agamba nti nze njagala omusajja nga muzeeyi nnyo kuba alabye bingi ate aba ne ssente kyokka ng’abazeeyi babeera ne bakazi baabwe olwo ggwe omukazi n’ofi irwa abavubuka abaali bakusaba obufumbo nga ggwe okyalina endowooza eyo, ekivaamu weesanga okaddiye.

10 Okukuyiwa. Abakazi n’abasajjja abasinga omuntu gw’abadde ayagala bw’amuyiwa kimuyisa bubi nnyo era abasinga eby’omukwano abivaako n’akaddiwa ng’ali bw’omu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...