TOP

Njagala bukodyo obunyweza omukwano

Added 23rd August 2017

Nsaba kumpa ku bukodyo obunyweza omukwano. Nze James okuva e Kayunga.

OKUSOOKERA ddala olina okumanya nti omukwano okunywera, omwami n’omukyala mulina okwewaayo okunyweza omukwano guno.

Gwe omusajja ssinga afaayo naye nga munno si byaliko era omukwano tegusobola kunywera.

Ennaku zino weesanga nti omu ku bafumbo afuba okulaba ng’omukwano gunywera naye ng’omulala si by’aliko.

Embeera eno weeri kubanga abantu bangi bayingira obufumbo nga si bamalirivu era bakikola kutuusa mukolo. Kati bw’atuuka mu bufumbo n’amenya munne.

Okunyweza omukwano walina okubaawo mukwano wakati wammwe era nga mwagalana kubanga mu mukwano buli omu yeeguya munne.

Mulina okubeera n’obwesigwa, obugumiikiriza, obusaasizi, okwagaliza, n’ebirala.

Buli omu alina okufaayo ku munne era gwe omusajja okukola obuvunaanyizibwa ng’omusajja, kiyamba munno naye okukola obunaanyizibwa bwe.

Ekirala bw’oyingira omukwano tolowooza nti olina okukyusa munno era olina okumanya nti munno alina ebirungi naawe olina ebirungi ate n’ebibi. Teri atuukiridde era mulina okuyiga okusonyiwagana. Bingi ebikuuma omukwano ne gunywera era sisobola kubimenya byonna wano mu mawulire.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu