TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebintu abakazi bye balina okukola okunyumisa akaboozi

Ebintu abakazi bye balina okukola okunyumisa akaboozi

Added 30th August 2017

ABAKAZI abamu balowooza nti bwe batuuka mu kitanda olwo omulimu gw’akaboozi guba gwa musajja.

 Abaagalana nga bali mu mukwano

Abaagalana nga bali mu mukwano

Ab’ekika ekyo be batuuka mu kitanda n’agamba munne nti; ‘Bw’omala ng’ombikka...’ Kino kimalamu abasajja amaanyi era abamu batuuka n’okuzira akaboozi lwa bakazi butafaayo kukola ebisanyusa n’okunyumisa akaboozi.

Ebimu ku bintu buli mukazi by’atalina kusuulirira ng’ali mu kaboozi mulimu;

1 Weeyambulire mu maaso ge. Abasajja banyumirwa nnyo okulaba obwereere bw’omukazi naddala ng’alina omubiri ogusikiriza era kino kibaleetera obwagazi.

2 Manya sitayiro y’akaboozi munno gy’asinga okwagala era omugambe gye muba mukozesa. Kino kijja kumuleetera okukwagala ennyo era omukwano gujja kumunyumira.

3 Munyeenyeze ekiwato. Kino abakazi abamu bakigayaalirira sso nga nsonga nkulu ddala mu kisenge. Kizibu omukazi amanyi okunyeenya ekiwato obutanyumisa kaboozi. Jjukira nti buli lw’onyeenya kyongera omusajja amaanyi n’atabaala ebisenge byonna.

4 Oluyimba lw’eggwanga luteekemu sitiiriyo n’ebisoko. Kozesa eddoboozi esseeneekerevu nga bw’ogattamu ebigambo ebimuwaana nga bw’amanyi okukola emirimu, ajja kuwoomerwa akube n’ennoga.

5 Totya kukwata musekuzo gwe kubanga buli lw’ogukwasa engalo zo naddala nga mpeweevu kijja kumwongera obwagazi, ate bw’onooguyisa ku balongo, mwembi mujja kwongera okucamuka, era we munaatuukira ku kaboozi kennyini nga mwayiddeyidde dda.

6 Waliwo abasajja abanyumirwa nga banuuna sswiiti waabwe. Bw’omanya nti kino akyagala nnyo tewali nsonga lwaki tokimukolera kubanga kijja kumucamula era omuzannyo gubanyumire.

7 Muyambeko ng’akunoonya. Okugeza bw’akukwata ku bbeere naawe mukwate ku mabeere ge oba oyinza okumugamba awakunyumira ssinga ebeera akuttewo naawe n’omubuuza w’ayagala omukwate asobole okunyumirwa.

8 Mulage nti onyumirwa ky’akola. Kino okikola ng’omuwaana okugeza oyinza okumagamba nti; “... sswiiti ontuuse..., bbebi ggwe asinga... wabula wakula bulungi...,” n’ebirala ebimuwaana ajja kunyumirwa, ate naawe bijja kukwongera obwagazi.

9 Muwe omubiri gwo agukozese ky’ayagala.Okugeza bw’aba ayagala bbakuli, tomugaana, bw’aba ayagala kuyonka, era muleke akole ky’ayagala ate bw’akugamba mukyuseemu era towalira, muleke aleete sitayiro gy’ayagala kijja kumwongera okunyumirwa.

10 Muweeweeteko awasinga okumucamula. Abakyala abamu bwe batandika akazannyo beerabira okubudaabuda abaami baabwe. Oluusi kino kiva mu bwagazi bwe baba nabwo obungi olwo ne batandika kwefaako bokka.

Mu ngeri entuufu omusajja bw’atandika omukwano omukyala ateekeddwa okusigala ng’aweeweeta munne mu bifo ebimucamula okutuusa lw’amalamu akagoba.

11 Okunywegera tokusuulirira kuba kino kye kimu ku birungo ebinyumisa omukwano. Abakyala abasinga balinda abasajja be baba batandika okubanywegera, olwo omusajja bw’atakikola ne basigala awo. Omukyala naawe munno mutandike ng’omunywegera mwembi mujja kunyumirwa. Munywegere ku mimwa, mu kamwa, amabeere, amatu n’ebifo ebirala onombuulira.

12 Weemanyiize okumukolera ebintu ebipya. Okugeza ssinga obadde otera kumuwa sitayiro ya minsonale, oluusi oyinza okutandikira ku kabuzi oba omusabe odde waggulu.

13 Okumwebaza nga mumazeemu akagoba nsonga nkulu eri abasajja. Kino kimulaga nti alina ky’akoze era ajja kufuna endasi addemu luutu endala.

Ruth Ssebuliba abudaabuda abafumbo yagambye nti kibeera kirungi omukazi n’ayambako omusajja we naddala nga bali mu kazannyo kubanga kibayamba okukanyumirwa buli omu n’amatira munne.

Ssebuliba agamba nti omukazi alina okuwaana omusajja we nga bali mu kisaawe, alina okunyeenya ekiwato era alina n’okumunoonya okusobola kunyumirwa akaboozi kubanga kino bw’atakikola omusajja aggwaamu amaanyi n’abeera nga tanyumirwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...