TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Obuntu obutonotono obunobya abakazi ensangi zino

Obuntu obutonotono obunobya abakazi ensangi zino

Added 30th August 2017

ABAFUMBO bwe baba batandika omukwano gwabwe tebamanya nti osanga ekiseera kirituuka ne baawukana.

Abaagalana nga batabuse

Abaagalana nga batabuse

Ebyembi emirundi mingi abafumbo baawukana wabula ng’oluusi ebibaawula temuba makulu. Obumu ku busongasonga obwawukanya abafumbo mulimu;

1 Okwenyiizanyiiza. Omuntu anyiiganyiiga ayinza obutakiraba nga nsonga naye munne abeera amukaluubiriza era bw’atasanga mugumiikiriza ayinza okumuviira.

2 Okuyombayomba, okweronda n’okwemulugunya ku buli kintu oluusi kikooya munno, era abatasobola kubigumira beesanga obufumbo babuvuddemu.

3 Obuteesiga munno nakyo kimalako emirembe kuba buli kiseera obeera omusuubiriza n’ebitali bituufu. Ekivaamu bwe bufumbo okujjamu okusika omuguwa era wano abamu we babuviiramu.

4 Omuntu atasiima naye tabeereka naye era kyangu omukazi okuva mu bufumbo lwa bba butasiima, oba omusajja okukyawa omukazi lwa butasiima bw’amukolera.

5 Obutalabirira munno omuli okumutuusaako ebyetaago nayo nsonga eringa entono sso ng’enobezza bangi.

6 Obutasonyiwa n’okukuuma obusungu nakyo oluusi kimalako munno emirembe era kyangu okukuviira olw’ensonga eno.

7 Okukyusa eddiini. Abamu bayinza okufumbiriganwa nga ba ddiini emu, wabula omu n’akyuka. Kino bwe kisanga atakkiriziganya na ddiini munne gy’agenzeemu kimala okubaawula.

8 Abakazi abamu tebayinza kugumira bukyawe obw’ekika kyonna. Era ne bwe giba nga mikwano gya bba gye gimukyaye ayinza okuva mu bufumbo, wadde nga bba abeera akyamwagala.

9 Okuzuula bye baakulimba mu ntandikwa nakyo kikuba wala abafumbo. Okugesa, abakazi abamu bakweka abaana be baazaala, balimba emyaka, ate abasajja balimba ebyobugagga. Gwe walimba bw’akugwamu omukwano guyinza okukoma awo.

10 Waliwo obuze bw’oyinza okuyisaako amaaso gamba ng’okulya ng’oswankula, okulya ng’olaga emmere n’ebirala. Bino munno ayinza obutabirabirawo, wabula bwe muyingira mu maka n’abiraba kyangu omukwano okuggwaawo.

11 Omululu. Kino oyinza okukiyita ekyangu naye omuntu w’omululu akutamya awaka anti ne bw’omufumbira takkuta. Kino kiyinza okunobya omukazi.

12 Obutakutta kaboozi nakyo kireeta okusika omuguwa mu maka era bwe mutayambibwa gayinza okusaanawo.

13 Obutakuza ennaku enkulu mu bulamu bwammwe gamba nga amazaalibwa, lwe mwagattibwa n’endala. Zino abakazi abamu bazitwala nga nkulu nnyo era bba bw’atazifaako amukyawa.

John Bosco Mulyowa ow’e Lugazi agamba nti okwewala bino byonna, kirungi abafumbo okuyiga buli omu okulaga munnen essanyu wadde ng’oluusi wabaawo ebitatambula bulungi.

Ekirala tegeera munno ky’ayagala. Kino kiba kyangu okutegeera nga mukyeraba kubanga we mutuukira mu maka mulina okuba nga buli omu ategedde munne.

Abafumbo beewale okunoonyereza ennyo ku bannaabwe naddala ebyo bye bakola nga bali bokka. Sigala ng’okolera munno bye wamukoleranga nga waakamulaba aleme kulowooza nti tokyamwetaaga.

Beera mulambulukufu gyali ku nsonga zonna aleme kubaamu kakunkuna. Okugumiikiriza ensonga zonna nakyo kikulu era kyeteekemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...