TOP

Omusajja yapaala ne mukwano gwange

Added 14th September 2017

Omutima gunnuma, simanyi oba ddala omwana yaamutta nga bwe yeewera oba gy’ali mulamu, kuba ebbanga ly’emyaka ebiri lye yakabeerako naye, tanzikiriza kumulabako wadde okwogera naye ku ssimu.

 Nassozi

Nassozi

NZE Sophia Nassozi, neevuma obutawuliriza bigambo bya Jjajjange ku musajja eyansigula mu bakadde bange ate olwamala okunzaalamu n’abuuka ne mukwano gwange.

Nalabagana ne taata w’omwana wange, mu 2005 bwe nnali mbeera ne jjajjange e Masanafu.

Yankwana era n’andaga ensi n’eggulu nange ne ndowooza nti nteebye olulenzi.

Yali muzimbi era ebiseera we naamulabira nalina emyaka 17, ate nga ye alinga mu myaka 30.

Wadde bangi baagezaako okundabula ku musajja gwebang’amba nti mukulu ku nze, naye omukwano gwali gumbisse amaaso nga byonna ssibiraba, ne tugenda mu maaso ne nva ewa jjajjange ne ng’enda ewuwe e Masanafu ne nkwata eddya.

Nafuna olubuto era ne nzaala omwana waffe ow’obulenzi Mahad kati agenda okuweza emyaka 11.

Olwamala okuzaala, baze empisa zaatandika okukyuka, ng’ayombayomba ssaako okunkubanga emiggo buli kaseera, kye saamanya nti yali aganzizza omuwala mukwano gwange Rashida Nakalema eyali muliraanwa waffe.

Banjooga nnyo, era embeera yampitirirako ne twawukana, Nakalema n’akwata eddya nga nze baze takyandabawo.

Yangoba ne ng’enda n’omwana waffe nga wa mwaka gumu, nga tatuwa buyambi.

Ekiseera kyatuuka ne nfuna omusajja omulala ne nfumbirwa, era kati ndi mufumbo.

Mu 2015, Mwande yatandika okunnoonya nti ayagala kulaba ku mwana we. Ebiseera ebyo yali mu kibiina kyakusatu, yatuukira wa mukulu wange Jamirah Nakato e Wamala, twakkaanya atwale omwana abeereko naye mu luwummula amale amuzze asome.

Wabula olwamutwala teyamuzza, kati emyaka ebiri, yang’aana okuddamu okumulabako wadde okwogerako naye, bwe mukubira essimu anvuma buvumi agamba nti nze mmuloga, era yeewera nti ayinza n’okutta omwana wange ssinga sirekeraawo kumuloga.

Tayagala kumunnyonnyola kyokka eby’obulogo by’ayogerako nze sibimanyi, kuba nze kati ndi mufumbo ew’omusajja omulala ye sirina kyemwagaza okuggyako okwagala okulaba ku mwana wange.

Omutima gunnuma, simanyi oba ddala omwana yaamutta nga bwe yeewera oba gy’ali mulamu, kuba ebbanga ly’emyaka ebiri lye yakabeerako naye, tanzikiriza kumulabako wadde okwogera naye ku ssimu.

Nagenda ku poliisi y’e Nansana ne nzigulawo omusango ku fayiro SD:22/29/08/2017, naye baamuyita n’agaama okujja, kati poliisi engamba nti bw’emusanga nkozese reference eyo akwatibwe.

Wabula Majid Mwande agamba nti mukyala oyo aliko ebintu by’akola ebirimu obulogo ate nga mukambwe nnyo.

Ate ebbanga lye nabeerako naye nga buli kiseera batugoba ku kyalo lwa kuwakula ntalo na kulwana.

Agamba nti muganda we abeera e Wamala gwe bayita Nakato yamukubira essimu n’amuwa omwana nga kati abeera naye kuba yamuwanga ssente ez’okuweerera omwana naye ng’amuteeka mu busomero obunafu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...